TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa KACITA abadde omusaale okulwanyisa Covid19 afudde Corona: Alese ekiraamo ekikakali

Owa KACITA abadde omusaale okulwanyisa Covid19 afudde Corona: Alese ekiraamo ekikakali

Added 20th September 2020

David Lukyamuzi

David Lukyamuzi

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA bw'afudde corona.

Wangi yafiiridde mu ddwaliro e Mulago ku Ssande nga bukya. Yatwalibwaayo wiiki nnamba emabega oluvannyuma lw'okufuna obunafu mu kussa era nga teyeewulira bulungi.

Yasooka kutwalibwa mu ddwaliro e Namirembe ng'awulira bubi kyokka ne bamuweerezza e Mulago okwongera okumwegebejja ne bamuzuulamu obulwadde bwa ssenyiga omukambwe [ covid 19 ] .

Ssentebe wa KACITA Everest Kayondo yagambye nti abasawo baabagaana okuddamu okumusemberera wadde okumuwuliza olw'obulwadde bwe baali bamuzuddemu. Bamujjanjabye ne bamussa ku byuma ebiyambako okussa kyokka ne balemererwa.

Wangi y'omu ku babadde bakubiriza ennyo abasuubuzi mu kiseera kino okwewala obulwadde bwa ssenyiga omukambwe era yalwanirira nnyo bannannyini maduuka okugaggulawo bakole.  

Abadde musuubuzi munene mu Kikuubo ng'alina edduuka ly'engoye ggaggadde mu kizimbe kya Ddembe Arcade era lyaggaddwa n'abasuubuzi ne balyesamba tewali asemberera we liri.

Ekiraamo;

  • Gye buvuddeko yatuuza basuubuzi banne be yeesiga mu Kikuubo bwe balina ekibiina ekirala kye bayita bannacoffee n'ababbirako ebimu ku bye yassa mu kiraamo kye era by'ayagala bamukolere ng'afudde. Banne baamukwata ku katambi ng'ayogera by'ayagala bamukolera nga tannaba kuziikibwa mu ddoboozi lye.
  • Mu katambi ayogera yennyini nti ayagala entaana ye bagizimbise amatafaali amanene agakoleddwa mu seminti n'omusenyu aga mwenda .
  • Ayagala bamusimire entaana ya fuuti waakiri entono ennyo munaana nga tayagala kutawanyizibwa nti awulira ebiri waggulu ng'abalala be baziika mu fuuti ssatu ku ngulu.
  • Omu ku mikwano gye ayimiriranga ku ntaana ye n'abuulira abantu ebirungi by'akoledde abasuubuzi.
  • Yasaba nti omu mikwano gye annyonnyolanga abakungubazi nti ensi eno erimu amazima . Ensi eno eddeyo eri abantu era abantu bakomye okunyigiriza abalala.
  • Wangi abadde akwata ekizindaalo n'atambula mu basuubuzi ng'abulira ebigambo by'okwewala corona ate KACITA ebadde eyimiriddewo ku ye wansi mu Kikuubo.
  • Abadde musajja atayagala nnannyini kizimbe kunyigiriza bapangisa ku ssente z'obupangisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.