TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnamagye aleese bwino ku bajaasi abatta Kaweesi

Munnamagye aleese bwino ku bajaasi abatta Kaweesi

Added 21st September 2020

MUNNAMAGYE eyadduka ayogedde ebyama ku batta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi ne Joan Kagezi amagye ne gayisa ekiragiro akwatibwe.

Omugenzi Kaweesi

Omugenzi Kaweesi

Lt. Isaac Rutagatina Sankara eyali akulira eby'amateeka mu kitongole ky'amagye ekirwanyisa abatujju ekya Anti - Terrorism Task Force (JATT) ekikolera wansi w'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya CMI, yatadde obutambi ku mikutu gya yintanenti ng'alumiriza abeebyokwerinda okubeera emabega w'okuttibwa kwa Kaweesi ne Kagezi.

Kaweesi yatemulwa nga March 17, 2017 e Kulambiro bwe yali agenda ku mulimu ku ssaawa 3:00 ez'okumakya ate Kagezi yatemulwa mu 2015 ng'adda ewuwe e Kiwatule ku ssaawa nga nga 2:30 ez'ekiro.

Mu bwino gwe yatadde ku mikutu gya yintanenti, Lt. Sankara yabadde abwolekeza Pulezidenti Museveni, omuduumizi wa UPDF, Gen. David Muhoozi ssaako abakulembeze abalala mu ggwanga.

Lt. Sankara alumiriza bakama be mu kitongole kya CMI okubeera emabega w'ettemu lino n'agamba nti, era bano, be baali emabega w'okusiiga eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura enziro ne bamusibako emisango egitali gimu omuli egy'obutemu, okulya mu nsi olukwe n'emirala.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Gen. Flavia Byekwaso yagambye nti, Lt. Sankara yadduka mu magye era baayisizza ekiragiro okumukwata wonna we bamusanze ne poliisi y'ensi yonna baagitegeezezza n'eyisa ekibaluwa kibakuntumye (red notice).

Yagasseeko nti, bwe banaamukwata waakuvunaanibwa omusango gw'okusaasaanya pokopoko ow'obulabe ku magye era wa kusimbibwa mu kkooti y'amagye avunaanibwe. Yayongeddeko nti, waliwo engeri nnyingi Lt. Sankara ze yabadde asobola okuyitamu okulaga ennyiike gy'alina ku mutima wabula yasazeewo okwonoona erinnya ly'abakulu mu magye.

Ku by'okutta Kaweesi yagambye nti, olukwe lwapangibwa ba CMI ne bakwata abasajja Gavumenti be yali yawa ekisonyiwo nga bavudde mu kibinja kya ADF okulaga nti, ADF ye yali emabega w'ettemu lino.

Ate ku Kagezi yagambye nti, bwe yattibwa, CMI yakwata omusajja Abdul Ssemujju Minana mu 2017 nga bagamba nti, Nixon Agasirwe ye yali amutumye okukola ettemu lino kyokka obujulizi ne bubula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.