TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga Meran Namatovu akwatiddwa ku by'omwana eyasaliddwaako omutwe

Ssenga Meran Namatovu akwatiddwa ku by'omwana eyasaliddwaako omutwe

Added 21st September 2020

EKITONGOLE ky'amagye ekikessi kikutte omukazi ateeberezebwa okupangisa omuvubuka eyasazeeko omwana omutwe n'agutwala ku Palamenti. Eyakwatiddwa ye Ssenga Meran Namatovu atabula eddagala era omusawo w'ekinnansi.

Bambega ba poliisi bazizza Nuwashaba e Masaka gye yasaliddeko omwana Kyamagero omutwe.

Bambega ba poliisi bazizza Nuwashaba e Masaka gye yasaliddeko omwana Kyamagero omutwe.





Baamukutte Lwakuna okuva mu dduuka lye mw'atundira eddagala ku kizimbe kya Kyengo Auto Parts ku Lubaga Road okuliraana oluguudo Kabakanjagala.

Bino biddiridde poliisi okukwata Josephat Nuwashaba 19, n'omutwe gw'omuntu ku Palamenti ng'agusabise mu kibookisi n'ategeeza nti kyabadde kirabo kya Sipiika Rebecca Kadaga.

Ssenga Namatovu gwe baakutte.

Omwana eyattiddwa ye Faith Kyamagero 3, azaalibwa Pasita Charles Ssenyonga ne Gloria Katunguka ab'e Kijabwemi mu Masaka. Yattiddwa ku Ssande. Nuwashaba yasooka kugula ssimu kw'abadde akubira be yakolaganye nabo okutta omwana. Era buli lwe bamukubira ng'ava okumpi n'awali abaawaka ng'agenda w'ayogerera nga tewali amuwulira.

ENGERI GYE BAAKUTTE NAMATOVU

Omwana gwe basse.

Bambega abanoonyereza ku musango baakebedde essimu ya Nuwashaba ne bakebera abantu be yasembyeyo okwogera nabo. Kigambibwa nti essimu ya Nuwashaba yabaddemu ennamba z'essimu eziwera kyokka nga yayogedde enfunda nnyingi ku nnamba ssatu okuli 0708 222 444; 0709 222 444 ne 0785 151 891.

Kyategeezeddwa nti bambega baalondodde essimu zino ne kizuulwa nga zonsatule za Ssenga Namatovu.

Kigambibwa nti Nuwashaba yategeezezza bambega nga bwe yakolaganye n'omukazi okutta omwana. Era omukazi yamuvuze mu mmotoka okuva e Masaka okutuuka e Nateete.

Kyokka Nuwashaba agamba tamanyi mannya ga mukazi yamutumye kutta mwana wadde gy'abeera, okuggyako amumanyi bulungi bw'afaanana. Kigambibwa nti bambega baalondedde essimu ne bazuula nga zikwatira ku mirongooti gy'e Mengo. Era baakebedde nga zaawandiisibwa mu mannya ga Ssenga Namatovu.

Ku Lwokuna baakubye ku ssimu ne bategeeza Ssenga nga bwe baagala okujjanjabibwa, 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...