TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bwino omulala ayiise ku bya Kibalama ne Bobi Wine

Bwino omulala ayiise ku bya Kibalama ne Bobi Wine

Added 21st September 2020

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama n’omuwandiisi, Paul Ssimbwa Kagombe balayiza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ku Bwapulezidenti bw’ekibiina ekyo yeesimbewo mu kalulu ka 2021.

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.
Ebyo baasooka kubikuuma nga byama okutuusa ng'omwezi ogwo guggwaako lwe baakiraga eri abantu ku ofiisi za NUP e Kamwokya. Bobi Wine yennyini yasirikira obutambi bwe yatadde ku Lwokutaano ng'alayizibwa wadde nga byonna byali bya kyama okumala ebbanga.

Akatambi akalala akaafulumye ku lunaku lwe lumu nga Kibalama addamu abaali balowooza nti yasasuddwa Bobi n'amuguza ekibiina kya NUP n'ategeeza nti aboogera ebyo bya kisiru kubanga ekibiina ky'ebyobufuzi si kya byabusuubuzi. Agamba nti, ebyobufuzi ssi bizinensi ate si kikye yekka wabula kya bantu bangi abaatuula ne bakkaanya.

We baakimuweera nga kyawandiisa abantu 25,000 okusinziira ku biwandiiko. Kibalama agamba nti bakyusa obukulembeze bw'ekibiina buli myaka ena era ekibiina ekyo ekyawandiisibwa mu 2004, kyakyusa obukulembeze mu mazima era mu mateeka nga bakikwasa Bobi.

Yagattako nti essaawa eno bannabyabufuzi abamuwakanya nti yaguza Bobi ekibiina n'abalala abaazimba emitima bakikola ng'abataagaliza naye ye ne banne baakikola lwa kuzuula nti wadde nga balina ekibiina, tebaalina mbavu etwala buyinza kwe kukikwasa Kyagulanyi akyalimu embavu.

Kibalama era yabuuzibwa be yalya nabo ku ssente ezigambibwa nti zaamuweebwa Kyagulanyi n'addamu nti waliwo abagamba nti Kyagulanyi yamuwa akawumbi abalala nti obukadde 800 era wano we yeebuuliza nti ssente ezo Kyagulanyi aba aziggyeewa!

Mu katambi wabula akaafulumye ku Lwokuna, Kibalama agamba yakkaanya ne Kyagulanyi ng'alina okumusasula obukadde butaano obwa ddoola ky'atasobodde essaawa eno n'asalawo ddiiru y'okumugatta ku kibiina kya NUP abiveemu kubanga yakibala bubi.

Kibalama essaawa eno akuumibwa amagye, waliwo abagamba nti yabyeyogeredde mu mutima gwe abalala nti yakakiddwa. Wabula nga tannatandika kukuumwa, Kibalama yakomawo ku NUP n'ategeeza nga bwe yali abuliddwaako emirembe okuva lwe yawa Bobi ekibiina ng'atiisibwatiisibwa.

Wabula amagye gagamba nti obukuumi babumuwa lw'abo abamaze ebbanga nga bamutiisatiisa. Mu kulayiza Kyagulanyi e Kakiri, Kibalama yamukwasa ebintu ebikulu ebinaamuyamba okukulembera ekibiina omwali Bayibuli, bendera ya Uganda n'eyekibiina kya NUP, ssemateeka wa Uganda n'owa NUP.

Ekirayiro yakikola adda mu bigambo Kagombe bye yali amusomera. Essaawa eno Kagombe naye alumiriza nti Bobi by'akola tebakyabitegeera n'essente obukadde obutaano obwa ddoola teyazisasula.

Byonna Bobi Wine yabyogeddeko mu bigambo bitono nti Kibalama alina okuba nga yakakiddwa okwogera bye yayogedde kubanga okusinziira ku biwandiiko by'alina okuva ku Kibalama ne Kagombe, tebandyegaanyi bye baawandiika.

Okugenda mu bya Kibalama, Bobi Wine yamala kulemererwa kuwandiisa kiwendo kya People Power olw'emisoso emingi.

BWINO omulala ayiise ng'abaali
bakulira ekibiina kya NUP okuli
eyali Pulezidenti waakyo, Moses
Nkonge Kibalama n'omuwandiisi,
Paul Ssimbwa Kagombe balayiza
omubaka wa Kyadondo East,
Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ku
Bwapulezidenti bw'ekibiina ekyo
yeesimbewo mu kalulu ka 2021.
Bwino alaga Bobi ng'akutte
Bayibuli alayizibwa abakungu ba
National Unity Platform (NUP)
bwe baali mu bimuli bya Kakiri
Gardens and hotel nga July 14,
2020 ng'olukiiko lw'ekibiina ekyo
ttabamiruka lwakaggwa.
Ebyo baasooka kubikuuma nga
byama okutuusa ng'omwezi ogwo
guggwaako lwe baakiraga eri abantu
ku ofiisi za NUP e Kamwokya.
Bobi Wine yennyini yasirikira
obutambi bwe yatadde ku Lwokutaano
ng'alayizibwa wadde nga
byonna byali bya kyama okumala
ebbanga.
Akatambi akalala akaafulumye
ku lunaku lwe lumu nga Kibalama
addamu abaali balowooza nti yasasuddwa
Bobi n'amuguza ekibiina
kya NUP n'ategeeza nti aboogera
ebyo bya kisiru kubanga ekibiina
ky'ebyobufuzi si kya byabusuubuzi.
Agamba nti, ebyobufuzi ssi
bizinensi ate si kikye yekka wabula
kya bantu bangi abaatuula ne
bakkaanya. We baakimuweera nga
kyawandiisa abantu 25,000 okusinziira
ku biwandiiko.
Kibalama agamba nti bakyusa
obukulembeze bw'ekibiina buli
myaka ena era ekibiina ekyo ekyawandiisibwa
mu 2004, kyakyusa
obukulembeze mu mazima era mu
mateeka nga bakikwasa Bobi.
Yagattako nti essaawa eno
bannabyabufuzi abamuwakanya
nti yaguza Bobi ekibiina n'abalala
abaazimba emitima bakikola
ng'abataagaliza naye ye ne banne
baakikola lwa kuzuula nti wadde
nga balina ekibiina, tebaalina mbavu
etwala buyinza kwe kukikwasa
Kyagulanyi akyalimu embavu.
Kibalama era yabuuzibwa be
yalya nabo ku ssente ezigambibwa
nti zaamuweebwa Kyagulanyi
n'addamu nti waliwo abagamba
nti Kyagulanyi yamuwa akawumbi
abalala nti obukadde 800 era wano
we yeebuuliza nti ssente ezo Kyagulanyi
aba aziggyeewa!
Mu katambi wabula akaafulumye
ku Lwokuna, Kibalama agamba
yakkaanya ne Kyagulanyi ng'alina
okumusasula obukadde butaano
obwa ddoola ky'atasobodde essaawa
eno n'asalawo ddiiru
y'okumugatta ku kibiina kya NUP
abiveemu kubanga yakibala bubi.
Kibalama essaawa eno akuumibwa
amagye, waliwo abagamba nti
yabyeyogeredde mu mutima gwe
abalala nti yakakiddwa.
Wabula nga tannatandika
kukuumwa, Kibalama yakomawo
ku NUP n'ategeeza nga bwe
yali abuliddwaako emirembe
okuva lwe yawa Bobi ekibiina
ng'atiisibwatiisibwa. Wabula
amagye gagamba nti obukuumi babumuwa
lw'abo abamaze ebbanga
nga bamutiisatiisa.
Mu kulayiza Kyagulanyi e Kakiri,
Kibalama yamukwasa ebintu
ebikulu ebinaamuyamba okukulembera
ekibiina omwali Bayibuli,
bendera ya Uganda n'eyekibiina
kya NUP, ssemateeka wa Uganda
n'owa NUP. Ekirayiro yakikola adda
mu bigambo Kagombe bye yali
amusomera. Essaawa eno Kagombe
naye alumiriza nti Bobi by'akola tebakyabitegeera
n'essente obukadde
obutaano obwa ddoola teyazisasula.
Byonna Bobi Wine yabyogeddeko
mu bigambo bitono nti Kibalama
alina okuba nga yakakiddwa
okwogera bye yayogedde kubanga
okusinziira ku biwandiiko by'alina
okuva ku Kibalama ne Kagombe,
tebandyegaanyi bye baawandiika.
Okugenda mu bya Kibalama,
Bobi Wine yamala kulemererwa
kuwandiisa kiwendo kya People
Power olw'emisoso emingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...