TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nagirinya: Ffayiro ye efuuse ensonga mu muliro gw'e Katwe!

Nagirinya: Ffayiro ye efuuse ensonga mu muliro gw'e Katwe!

Added 21st September 2020

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri gye gwakutte akasonda kokka akaabaddemu ffayiro ez’emisango gy’ettemu egy’amaanyi.




Ebintu ebirala ebyabadde mu ofiisi nga n'ezisinga mpapula tebyayidde Ffayiro z'obutemu, ebizibiti n'ez'obufere obulimu ssente ennyingi nazo tezaasimattuse.

Ensonda ku poliisi e Katwe zaategeezezza nti mu bintu ebyayidde, mwabaddemu ne ffayiro y'omusango gw'okuttibwa kw'omuwala Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa abattibwa nga August 28, 2019.

Omuliro gwakutte ku Ssande ya wiiki ewedde mu budde bw'ekiro wabula engeri gye gwakutte na buli kati ekyatakuza abatwala poliisi emitwe.

Kino kyawalirizza omuduumizi wa poliisi mu ggwanga okuyungula ttiimu eriko abaserikale b'ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi, abanoonyereza okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli, n'abalala okuva ku kitebe kya poliisi ya Kampala South, okukola okunoonyereza ebyavuddeko omuliro, Ensonda zaategeezezza nti, ebintu ebyayidde ebirala, mwabaddemu ssente enkalu obukadde 80 nga kigambiabwa nti zaasiridde zonna ne zifuuka bisiriiza, era mwabaddemu n'ebizibiti ebirala ebya ssente obukadde 46, zino kigambibwa nti zabbiddwa.

Kino kyatadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, ASP Gloria Rukundo mu kattu era kyategeerekese nti yakwatiddwa n'akola sitetimenti oluvannyuma n'ayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

KITEGEEZA KI KU MUSANGO GWA NAGIRINYA?

Nga March 14, 2020 omulamuzi w'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nateete, Joel Wegoye, yasindika abasajja musanvu abagambibwa okutta Nagirinya mu kkooti enkulu batandike okuwoza.

Ku lunaku olwo, abasibe tebaaleetebwa mu kkooti, baali ku ka ttivvi (video conferencing) mu kkomera e Luzira omulamuzi n'abategeeza nti, abasindise mu kkooti enkulu.

Abaasindikibwa mu kkooti enkulu kuliko; Coporiyamu Kasolo eyeeyita Arsenal, Johnson Lubega eyeeyita Etoo Rasta Manonmano, Nasif Kalyango eyeeyita Moyonge, Hassan Kisekka, Sharif Mpanga, Sadat Kateregga ne Raymond Okori.

Omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Immaculate Nambaju yategeeza kkooti nti, okunoonyereza kwali kuwedde era bajja kwesigama ku sitetimenti z'abavunaanibwa abakkiriza nti be batta Nagirinya n'ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera z'oku nguudo.

Nambaju yategeeza kkooti nti, era baali baakwesigama ku bbaluwa y'omusawo eyalaga nti, Nagirinya ne Kitayimbwa baafa oluvannyuma lw'okukubwa ekintu eky'amaanyi ku mitwe gyabwe.

Bino byonna byateekebwa ku ffayiro y'omusango era omwogezi w'essiga eddamuzi, Solomon Muyita yagambye nti, abasibe balinze kutandika kuwozesebwa. Muyita yagambye nti, ekibadde kirwisizza omusango guno okutandika, obulwadde bwa Corona bwe bwajja mu ggwanga, kkooti enkulu yayimiriza okuwulira emisango gyonna naddala egy'amaanyi kubanga ekitongole ky'amakomera kyayimiriza okutwala abasibe mu kkooti.

Yayongeddeko nti, omusango basuubira gujja kutandika mu lutuula lwa kkooti olunaddako singa Corona anaaba alinnyiddwa ku nfeete.

BULI MUSANGO TUGUKOLERA FFAYIRO BBIRI - POLIISI

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine bwe yatuukiriddwa yagambye nti, waliwo ebiwandiiko eby'omugaso ebyayidde kyokka tewali ffayiro ya musango gwonna yayidde.

Yagambye nti omusango gwonna ogw'obutemu bwe gusindikibwa mu kkooti enkulu, ffayiro eva ku poliisi n'egenda mu ofiisi y'omuwaabi wa Gavumenti era y'aba agirinako obuvunaanyizibwa n'ategeeza nti, ne bw'eba eri ku poliisi, tebeera mu ofiisi y'akulira kunoonyereza ku buzzi bwa misango.

"Ffayiro bw'ejja, akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango agiyitamu n'agiweereza ew'omuserikale agenda okugikolako." Twine bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, bwe bamala okunoonyereza ku musango gwonna omunene, ffayiro bagikolamu kkopi era kkopi ebeera ekoleddwa, esigala ku poliisi ate ffayiro entuufu (original) n'etwalibwa ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango e Kibuli. "Abasibe abali ku musango gwa Nagirinya tebeeyibaala nti ffayiro yayidde," Twine bwe yagambye.

Ensonda zaategeezezza nti, omusango gwa Nagirinya gulimu ekitategeerekeka wadde ng'abaakwatibwa bakkiriza nti be baamutta.

Mu kusooka, waliwo ebyali bigambibwa nti, waliwo eyapangisa abavubuka nga abasinga baali baakava mu kkomera okutta Nagirinya nti era, omulimu baagubaweera mu kkomera e Luzira kyokka n'okutuusa kati, omuntu oyo eyali ayogerwako takwatibwa nga.

OMUSANGO NZE NAGUKWASA KATONDA - KITAAWE WA NAGIRINYA

Nagirinya yali muwala wa Francis Kimbowa omutuuze w'e Nsambya era yali akola mu kitongole kya CIDI, kitaawe n'abalala kye baatandika e Muyenga. Lubowa bwe yatuukiriddwa yagambye nti, omusango gw'okutemulwa kwa muwala we, yagukwasa Katonda kubanga byamulema okutegeera.

"Abaserikale bajja wano ne bang'amba tewali kyamaanyi kigenda kuguvaamu kubanga abaakwatibwa baagambye nti, baava awaka nga bagenze kubba ng'enziba eyaabulijjo naye agenze okubba awamba n'atta?" Lubowa bwe yeebuuzizza. Nagirinya yawambibwa okuva mu Nabisasiro zooni e Lubaga ne ddereeva we ne babatta, emirambo ne bagisuula mu lusenyi lw'e Nakitutuli ku luguudo oluva e Mukono okudda e Kayunga.

Lubowa akkiriza nti, muwala we waliwo omuntu eyapangisa abatemu okumutta era yagambye nti, singa baali bagenze kubba, tebandimusse omulambo ne baguvuga ne bagutwala ne bagusuula ate emmotoka ne bagivuga ne bagikomyawo e Kampala okumpi ne we yali asula.

ABANTU MUNAANA BAKWATIDDWA

Poliisi yakutte abantu munaana okuli n'abaserikale ba poliisi mukaaga ne baggulwako emisango omuli okukozesa obubi ofiisi, okwekobaana okuzza omusango n'okwonoona ebizibiti.

Abaakwatiddwa kuliko; Karim Bakole akulira sitoowa ya poliisi e Katwe, D/IP Kibuuka, omuserikale wa Flying Squad eyategeerekeseeko erya Kawaawa, IP Ejonu, PC Esther Among akulira ekkomera ly'abakazi, Prossy Candia omuyambi w'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, Badru Mirambi ne Marvey Jamal.

Kigambibwa nti ofiisi okukwata omuliro kyaddiridde Rukundo okuteeka Bakole ku nninga amuwe ebizibiti bya bukadde 25 ezaakwatibwa mu musango gw'obufere kyokka ne zitatwalibwa mu kkooti era omusango bwe gwaggwa, gwe baali bavunaana n'asaba bamuddize ssente ze nga tezirabikako.

OMULIRO ogwayokezza ofiisi
y'akulira okunoonyereza ku
buzzi bw'emisango e Katwe,
gukyatabudde abantu olw'engeri
gye gwakutte akasonda kokka
akaabaddemu ffayiro ez'emisango
gy'ettemu egy'amaanyi. Ebintu
ebirala ebyabadde mu ofiisi nga
n'ezisinga mpapula tebyayidde
Ffayiro z'obutemu, ebizibiti
n'ez'obufere obulimu ssente ennyingi
nazo tezaasimattuse.
Ensonda ku poliisi e Katwe
zaategeezezza nti mu bintu
ebyayidde, mwabaddemu ne
ffayiro y'omusango gw'okuttibwa
kw'omuwala Maria Nagirinya ne
ddereeva we Ronald Kitayimbwa
abattibwa nga August 28, 2019.
Omuliro gwakutte ku Ssande ya
wiiki ewedde mu budde bw'ekiro
wabula engeri gye gwakutte na
buli kati ekyatakuza abatwala
poliisi emitwe. Kino kyawalirizza
omuduumizi wa poliisi mu
ggwanga okuyungula ttiimu eriko
abaserikale b'ekitongole ekikwasisa
empisa mu poliisi, abanoonyereza
okuva ku kitebe kya
bambega e Kibuli, n'abalala okuva
ku kitebe kya poliisi ya Kampala
South, okukola okunoonyereza
ebyavuddeko omuliro,
Ensonda zaategeezezza nti, ebintu
ebyayidde ebirala, mwabaddemu
ssente enkalu obukadde 80
nga kigambiabwa nti zaasiridde
zonna ne zifuuka bisiriiza, era
mwabaddemu n'ebizibiti ebirala
ebya ssente obukadde 46, zino
kigambibwa nti zabbiddwa.
Kino kyatadde akulira okunoonyereza
ku buzzi bw'emisango
ku poliisi eno, ASP Gloria Rukundo
mu kattu era kyategeerekese
nti yakwatiddwa n'akola sitetimenti
oluvannyuma n'ayimbulwa
ku kakalu ka poliisi.
KITEGEEZA KI KU MUSANGO
GWA NAGIRINYA?
Nga March 14, 2020 omulamuzi
w'eddaala erisooka ku kkooti y'e
Nateete, Joel Wegoye, yasindika
abasajja musanvu abagambibwa
okutta Nagirinya mu kkooti enkulu
batandike okuwoza.
Ku lunaku olwo, abasibe
tebaaleetebwa mu kkooti, baali
ku ka ttivvi (video conferencing)
mu kkomera e Luzira omulamuzi
n'abategeeza nti, abasindise mu
kkooti enkulu.
Abaasindikibwa mu kkooti
enkulu kuliko; Coporiyamu Kasolo
eyeeyita Arsenal, Johnson Lubega
eyeeyita Etoo Rasta Manonmano,
Nasif Kalyango eyeeyita Moyonge,
Hassan Kisekka, Sharif Mpanga,
Sadat Kateregga ne Raymond
Okori.
Omuwaabi wa Gavumenti
mu musango guno, Immaculate
Nambaju yategeeza kkooti nti,
okunoonyereza kwali kuwedde
era bajja kwesigama ku sitetimenti
z'abavunaanibwa abakkiriza nti
be batta Nagirinya n'ebifaananyi
ebyakwatibwa kkamera z'oku
nguudo.
Nambaju yategeeza kkooti
nti, era baali baakwesigama ku
bbaluwa y'omusawo eyalaga nti,
Nagirinya ne Kitayimbwa baafa
oluvannyuma lw'okukubwa ekintu
eky'amaanyi ku mitwe gyabwe.
Bino byonna byateekebwa ku
ffayiro y'omusango era omwogezi
w'essiga eddamuzi, Solomon
Muyita yagambye nti, abasibe
balinze kutandika kuwozesebwa.
Muyita yagambye nti, ekibadde
kirwisizza omusango guno
okutandika, obulwadde bwa
Corona bwe bwajja mu ggwanga,
kkooti enkulu yayimiriza okuwulira
emisango gyonna naddala
egy'amaanyi kubanga ekitongole
ky'amakomera kyayimiriza okutwala
abasibe mu kkooti.
Yayongeddeko nti, omusango
basuubira gujja kutandika mu
lutuula lwa kkooti olunaddako
singa Corona anaaba alinnyiddwa
ku nfeete.
BULI MUSANGO TUGUKOLERA
FFAYIRO BBIRI - POLIISI
Omwogezi w'ekitongole kya
poliisi ekinoonyereza ku buzzi
bw'emisango, Charles Mansio
Twine bwe yatuukiriddwa
yagambye nti, waliwo ebiwandiiko
eby'omugaso ebyayidde kyokka
tewali ffayiro ya musango gwonna
yayidde.
Yagambye nti omusango
gwonna ogw'obutemu bwe
gusindikibwa mu kkooti enkulu,
ffayiro eva ku poliisi n'egenda mu
ofiisi y'omuwaabi wa Gavumenti
era y'aba agirinako obuvunaanyizibwa
n'ategeeza nti, ne bw'eba
eri ku poliisi, tebeera mu ofiisi
y'akulira kunoonyereza ku buzzi
bwa misango.
"Ffayiro bw'ejja, akulira okunoonyereza
ku buzzi bw'emisango
agiyitamu n'agiweereza
ew'omuserikale agenda okugikolako."
Twine bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, bwe bamala
okunoonyereza ku musango
gwonna omunene, ffayiro
bagikolamu kkopi era kkopi
ebeera ekoleddwa, esigala ku
poliisi ate ffayiro entuufu (original)
n'etwalibwa ku kitebe kya
poliisi ekinoonyereza ku buzzi
bw'emisango e Kibuli.
"Abasibe abali ku musango gwa
Nagirinya tebeeyibaala nti ffayiro
yayidde," Twine bwe yagambye.
Ensonda zaategeezezza nti,
omusango gwa Nagirinya
gulimu ekitategeerekeka wadde
ng'abaakwatibwa bakkiriza nti be
baamutta.
Mu kusooka, waliwo ebyali
bigambibwa nti, waliwo eyapangisa
abavubuka nga abasinga
baali baakava mu kkomera okutta
Nagirinya nti era, omulimu baagubaweera
mu kkomera e Luzira
kyokka n'okutuusa kati, omuntu
oyo eyali ayogerwako takwatibwa
nga.
OMUSANGO NZE NAGUKWASA KATONDA
- KITAAWE WA NAGIRINYA
Nagirinya yali muwala wa Francis
Kimbowa omutuuze w'e Nsambya
era yali akola mu kitongole
kya CIDI, kitaawe n'abalala kye
baatandika e Muyenga.
Lubowa bwe yatuukiriddwa
yagambye nti, omusango
gw'okutemulwa kwa muwala we,
yagukwasa Katonda kubanga
byamulema okutegeera.
"Abaserikale bajja wano ne bah−
hamba tewali kyamaanyi kigenda
kuguvaamu kubanga abaakwatibwa
baagambye nti, baava awaka
nga bagenze kubba ng'enziba
eyaabulijjo naye agenze okubba
awamba n'atta?" Lubowa bwe
yeebuuzizza.
Nagirinya yawambibwa okuva
mu Nabisasiro zooni e Lubaga ne
ddereeva we ne babatta, emirambo
ne bagisuula mu lusenyi
lw'e Nakitutuli ku luguudo oluva e
Mukono okudda e Kayunga.
Lubowa akkiriza nti, muwala
we waliwo omuntu eyapangisa
abatemu okumutta era yagambye
nti, singa baali bagenze kubba,
tebandimusse omulambo ne baguvuga
ne bagutwala ne bagusuula
ate emmotoka ne bagivuga ne
bagikomyawo e Kampala okumpi
ne we yali asula.
ABANTU MUNAANA BAKWATIDDWA
Poliisi yakutte abantu munaana
okuli n'abaserikale ba poliisi mukaaga
ne baggulwako emisango
omuli okukozesa obubi ofiisi,
okwekobaana okuzza omusango
n'okwonoona ebizibiti.
Abaakwatiddwa kuliko; Karim
Bakole akulira sitoowa ya poliisi e
Katwe, D/IP Kibuuka, omuserikale
wa Flying Squad eyategeerekeseeko
erya Kawaawa, IP Ejonu, PC
Esther Among akulira ekkomera
ly'abakazi, Prossy Candia omuyambi
w'akulira okunoonyereza ku
buzzi bw'emisango ku poliisi eno,
Badru Mirambi ne Marvey Jamal.
Kigambibwa nti ofiisi okukwata
omuliro kyaddiridde Rukundo
okuteeka Bakole ku nninga
amuwe ebizibiti bya bukadde
25 ezaakwatibwa mu musango
gw'obufere kyokka ne zitatwalibwa
mu kkooti era omusango bwe
gwaggwa, gwe baali bavunaana
n'asaba bamuddize ssente ze nga
tezirabikako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...