TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaleppuka n'ogwokulya mu nsi olukwe bejjeerezeddwa

Abaleppuka n'ogwokulya mu nsi olukwe bejjeerezeddwa

Added 21st September 2020

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument ya Pulezidenti Museveni.




BYA MARGARET ZALWANGO

Abeejjerezeddwa kuliko Sgt. Yunus Lemeriga, Cpl Rogers Mweru, Sgt Adams Mawa, Sgt Albino Okeng ne Pte Dodola Ijosiga, nga bajaasi ba UPDF mu buligeedi y'e Masaka.

Ssentebe wa kkooti lt gen ansdrew gutti bwabadde asoma ensala ya kkooti ategezezza nti ku bajulzi bataano abaletebwa oludda oluwaabi tekuli nomu yayogera ku bajaasi bano wadde okubamanya ekiraga nti tebalina kakwate nemisango egaybassiikabwako.

Ayongeddeko nti abajulzi bonnabaali balumiriza eyali omubaka wa palamenti tonny kipoi eyali avunaanibwa nebano. Kipoi yayimbulwa kkooti yemu oluvanyuma lwokuweebwa ekisonyiwo bweyakkiriza emisango gyobwakalintalo.

Oludda oluwaabi lugamba wakati wa 2011 ne 2012 nga bakuleberwa Kipoi  mu bitundu bya Kampala, Mpigi, Luwero Entebbe, Fort Portal, Mbale, Masaka ne Nakasongola beenyigira mu bikolwa byekiyeekera bwebategeka olukwe okujjako gavumenti era nebawandiisa abajaasi okwenyigira mu bikolwa bino.

Kyokka Gutti ategeezezza nti bano tebalina gwonna kwebyo ebibogerwako nabategeeza nti kati baddembe era balya butaala okujjako nga bakwatiddwa ku misango emirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...