TOP

Abazadde batidde ffiizi n'ebyetaago

Added 22nd September 2020

Abazadde basanyukidde okuggulawo amasomero kyokka abamu ne balaga okutya gye banaggya ffiizi kubanga bangi emirimu gyabwe gyagootaana olwa Corona.

Akulira ebyenjigiriza e Kalungu, Mukasa Bbaale.

Akulira ebyenjigiriza e Kalungu, Mukasa Bbaale.




Mu ngeri y'emu baagala Gavumenti ewe ekiragiro abakulu b'amasomero obutagoba baana lwa ffiizi n'okukkiriza ssente z'ebitundu, n'obutasaba bazadde kugula bintu nga sanitayiza, oba obuuma obupima ebbugumu kubanga bya ssente nnyingi.

Abaddukanya amasomero nabo bagamba bali mu kattu okuggulawo n'ekibiina kimu ekya P7 mu pulayimale. Oba ebibiina bibiri (S4 ne S6) ku bibiina omukaaga nti ensimbi ze bawa ntono nnyo okuyimirizaawo essomero.

Beetaaga okwongera okutangaazibwa ku kiki ekibaawo singa abayizi basatu bakeberebwa nga balina Corona? Be basoma nabo babakola batya? Nabo batwalibwa mu kalantiini? Abayizi ba P7, S4 oba S6 bagenda kukola ddi ebigezo? Bwe guba mwaka guno balimalayo ddi ebyategekebwa okusoma (syllabus) ?

ABAZADDE BOOGEDDE

Nubuwati Kawalabu, Gayaza High, agamba nti; " Gavumenti etuyambe ku nsonga y'okutusasulira ku bisale by'amasomero ebimu nga bw'ebaddenga ekola ku bayimbi nga Kusasira ne Full Figure b'ewadde obutitimbe bw'ensimbi okwebeezaawo mu biseera".

ABAKULU B'AMASOMERO BOOGEDDE:

Abakulira amasomero abasinga n'ebibiina ebibagatta mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo balaze nga bwe bali abeetegefu okuggulawo amasomero nga Pulezidenti bwe yalangiridde nga October 15, ne bakuumira abayizi ku masomero nga tebakwatiddwa bulwadde.

Newankubadde wakyaliwo abeeraliikirira nti ebikozesebwa bijja kubatawaanya naye ebitandikirwako okusobola okutuukiriza ebisaanyizo ab'ebyobulamu bye baateekawo byo bagamba babirina.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga ku Ssande yakkirizza amasomero okuddamu okuggulawo nga October 15 nga gatandika n'ebibiina ebyakamalirizo P7, S4 ne S6 n'abali mu mwaka ogwakamalirizo mu matendekero agaawaggulu. Edward Ssenabulya, akulira St. Johns Primary e Kijjabwemi, yagambye nti ekiyinza okukalubya embeera, be basomesa abamu baasuulawo emirimu nga kati abakulira amasomero bali mu kunoonya balala basobole okuziba eddibu lye baalekawo. Obweraliikirivu bw'abakulira amasomero abasinga buli nti, abazadde tebagenda kusobola kusasula bisale.

Omuwandiisi w'ekibiina ekigatta amasomero g'obwannannyini mu Masaka n'emiriraano, JohnBosco Ssenkasi yategeezezza nti amasomero mangi ag'obwannannyini gagenda kukaluubirirwa okugula ebikozesebwa kubanga tegalina ssente.

Kati abaamasomero amaaso bagatadde ku minisitule y'ebyenjigiriza okulaba ky'esobola okubakwatizaako nga Pulezidenti bwe yalagidde.

Kyokka yagambye nti okuggulawo ne batandika n'ebibiina ebyakamalirizo kijja kubayamba okwetegeka obulungi. Wabula abamu nga bakaaba nti, okutandika n'abayizi abatono ssente ezeetaagisa okutambuza emirimu gy'essomero kyenkana zisigala ze zimu kubanga ebikozesebwa ng'amasannyalaze n'abakozi tebikyuka.

LUWEERO BASANYUKIDDE OKUGGULAWO:

Chrysostom Lule, akulira Kasaala SSS agamba nti Pulezidenti yagenze okulagira okuggulawo ng'ekitongole kya Education Standards Agency kyagenda dda ku ssomero lye okubalambula.

Abayizi 200 be tulina tusobola bulungi okukozesa ebibiina bye tulina ku ssomero ne bibamala bulungi kubanga n'abajja okutulambula twabibalaga".

Wilson Nsubuga, akulira Luweero SS yagambye nti ekiseera kye babawadde kimala okweteekateeka okufuna ebikozesebwa bye babadde tebalina.

"Okusoomoozebwa abasomesa kwe tugenda okusanga kwe kukwasisa abayizi amateeka g'okwekuuma obulwadde ng'okwambala masiki kubanga omuyizi buli kiseera obeera olina okumujjukiza kubanga ekintu kipya.

KALUNGU:

Akulira ebyenjigiriza mu Kalungu, David Mukasa Bbaale, yagambye nti Pulezidenti yabatikkuddeko omugugu ng'awa abazadde essuubi nti abaana bajja kukola ebigezo ebyakamalirizo omwaka guleme kufiira ddala. Wabula n'alaga okusoomoozebwa naddala mu masomero ga Gavumenti agatannaba kussaako bikomera nga weetaaga okubaawo ekifo abayizi we bayingirira.

Edirisa Kizito Ssendi, akulira Lutengo SSS, abadde yeesunga nti abaana bonna bagenda kukkirizibwa okuddamu kubanga obukwakkulizo ab'ebyobulamu bwe baabateerawo baabutuukiriza dda. Wabula mweraliikirivu nti ng'abasomesa kiyinza okubakaluubiriza okulondoola abayizi abasomera awaka naddala abato.

Akulira ekibiina ekigatta abakulu b'amasomero ga primary (KAHEDA), Gertrude Nambiro, yeebazizza Pulezidenti olw'okuggulawo amasomero n'abawaayo n'obudde

AB'E MUKONO EBIZIMBE BIBAMALA:

Efrance Nakisozi akulira Kisowera Primary School yategeezezza nti beetegese bulungi. Agamba nti omulimu ogwabwe gwa kuteekawo eby'okunaaba mu ngalo wabula basuubira abayizi okujja ne masiki. Ate Dinah Grace Nakabuye akulira Kisowera SS agamba nti ne bw'obagamba okuggulawo olwaleero beetegefu.

Ebibiina bye balina bisobola okutuuza abayizi ba S4 ne S6 nga beesudde amabanga Sentebe w'e kibiina ekigatta amasomero g'obwannannyini e Mukono, Nicholas Bwire, agamba nti balina bingi ebibasoomooza ebigenda okubalemesa okutuukiriza ebirina okugobererwa. Enjala yaakubaluma kubanga bizinensi ezimu ze babadde bakolagana nazo okufuna ebikozesebwa zaasigala zibanja.

SSAABALABIRIZI ALAGIDDE AMASOMERO G'EKKANISA

Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stephen Kazimba yalagidde amasomero g'ekkanisa ku mitendera gyonna okukolera awamu ne minisitule y'ebyenjigiriza okulaba nga bateeka mu nkola ebibalagirwa. Amasomero g'ekkanisa gajja kulambikibwa ekitongole ky'ebyenjigiriza mu pulovinsi y'ekkanisa ya Uganda.

UNEB YEETEGESE

Omwogezi wa UNEB, Jeniffer Kalule Musamba, yategeezezza nti nabo bakolera wansi wa minisitule y'ebyenjigiriza era mu kiseera kino balinze ebawabule ku nteekateeka eddako kyokka essuubi weeriri nti wiiki eno w'eneggweerako nga bategeezezza amasomero, abazadde n'abayizi ekiddako.

Abazadde basanyukidde okuggulawo
amasomero kyokka abamu
ne balaga okutya gye banaggya
ffiizi kubanga bangi emirimu
gyabwe gyagootaana olwa Corona.
Mu ngeri y'emu baagala
Gavumenti ewe ekiragiro abakulu
b'amasomero obutagoba
baana lwa ffiizi n'okukkiriza ssente
z'ebitundu, n'obutasaba bazadde
kugula bintu nga sanitayiza, oba
obuuma obupima ebbugumu
kubanga bya ssente nnyingi.
Abaddukanya amasomero nabo
bagamba bali mu kattu okuggulawo
n'ekibiina kimu ekya P7 mu
pulayimale. Oba ebibiina bibiri
(S4 ne S6) ku bibiina omukaaga
nti ensimbi ze bawa ntono nnyo
okuyimirizaawo essomero.
Beetaaga okwongera okutangaazibwa
ku kiki ekibaawo singa
abayizi basatu bakeberebwa nga
balina Corona? Be basoma nabo
babakola batya? Nabo batwalibwa
mu kalantiini?
Abayizi ba P7, S4 oba S6
bagenda kukola ddi ebigezo? Bwe
guba mwaka guno balimalayo ddi
ebyategekebwa okusoma (syllabus)
?
ABAZADDE BOOGEDDE
Nubuwati Kawalabu,
Gayaza High, agamba nti;
" Gavumenti etuyambe ku
nsonga y'okutusasulira ku
bisale by'amasomero ebimu nga
bw'ebaddenga ekola ku bayimbi
nga Kusasira ne Full Figure
b'ewadde obutitimbe bw'ensimbi
okwebeezaawo mu biseera".
ABAKULU B'AMASOMERO BOOGEDDE:
Abakulira amasomero abasinga
n'ebibiina ebibagatta mu bitundu
by'eggwanga eby'enjawulo balaze
nga bwe bali abeetegefu okuggulawo
amasomero nga Pulezidenti
bwe yalangiridde nga October 15,
ne bakuumira abayizi ku masomero
nga tebakwatiddwa bulwadde.
Newankubadde wakyaliwo
abeeraliikirira nti ebikozesebwa
bijja kubatawaanya naye ebitandikirwako
okusobola okutuukiriza
ebisaanyizo ab'ebyobulamu
bye baateekawo byo bagamba
babirina.
Pulezidenti Museveni bwe
yabadde ayogera eri eggwanga
ku Ssande yakkirizza amasomero
okuddamu okuggulawo nga October
15 nga gatandika n'ebibiina
ebyakamalirizo P7, S4 ne S6
n'abali mu mwaka ogwakamalirizo
mu matendekero agaawaggulu.
Edward Ssenabulya, akulira
St. Johns Primary e Kijjabwemi,
yagambye nti ekiyinza okukalubya
embeera, be basomesa abamu
baasuulawo emirimu nga kati
abakulira amasomero bali mu
kunoonya balala basobole okuziba
eddibu lye baalekawo.
Obweraliikirivu bw'abakulira
amasomero abasinga buli nti,
abazadde tebagenda kusobola
kusasula bisale. Omuwandiisi
w'ekibiina ekigatta amasomero
g'obwannannyini mu Masaka
n'emiriraano, JohnBosco Ssenkasi
yategeezezza nti amasomero
mangi ag'obwannannyini gagenda
kukaluubirirwa okugula ebikozesebwa
kubanga tegalina ssente.
Kati abaamasomero amaaso
bagatadde ku minisitule
y'ebyenjigiriza okulaba ky'esobola
okubakwatizaako nga Pulezidenti
bwe yalagidde. Kyokka yagambye
nti okuggulawo ne batandika
n'ebibiina ebyakamalirizo kijja
kubayamba okwetegeka obulungi.
Wabula abamu nga bakaaba
nti, okutandika n'abayizi abatono
ssente ezeetaagisa okutambuza
emirimu gy'essomero kyenkana
zisigala ze zimu kubanga
ebikozesebwa ng'amasannyalaze
n'abakozi tebikyuka.
LUWEERO BASANYUKIDDE OKUGGULAWO:
Chrysostom Lule, akulira Kasaala
SSS agamba nti Pulezidenti
yagenze okulagira okuggulawo
ng'ekitongole kya Education Standards
Agency kyagenda dda ku
ssomero lye okubalambula.
Abayizi 200 be tulina tusobola
bulungi okukozesa ebibiina bye
tulina ku ssomero ne bibamala
bulungi kubanga n'abajja okutulambula
twabibalaga".
Wilson Nsubuga, akulira
Luweero SS yagambye nti ekiseera
kye babawadde kimala okweteekateeka
okufuna ebikozesebwa
bye babadde tebalina.
"Okusoomoozebwa abasomesa
kwe tugenda okusanga kwe
kukwasisa abayizi amateeka
g'okwekuuma obulwadde
ng'okwambala masiki kubanga
omuyizi buli kiseera obeera olina
okumujjukiza kubanga ekintu
kipya.
KALUNGU:
Akulira ebyenjigiriza mu Kalungu,
David Mukasa Bbaale, yagambye
nti Pulezidenti yabatikkuddeko
omugugu ng'awa abazadde essuubi
nti abaana bajja kukola
ebigezo ebyakamalirizo omwaka
guleme kufiira ddala.
Wabula n'alaga okusoomoozebwa
naddala mu masomero ga
Gavumenti agatannaba kussaako
bikomera nga weetaaga okubaawo
ekifo abayizi we bayingirira.
Edirisa Kizito Ssendi, akulira
Lutengo SSS, abadde yeesunga
nti abaana bonna bagenda kukkirizibwa
okuddamu kubanga
obukwakkulizo ab'ebyobulamu
bwe baabateerawo baabutuukiriza
dda. Wabula mweraliikirivu
nti ng'abasomesa kiyinza
okubakaluubiriza okulondoola
abayizi abasomera awaka naddala
abato.
Akulira ekibiina ekigatta
abakulu b'amasomero ga primary
(KAHEDA), Gertrude
Nambiro, yeebazizza Pulezidenti
olw'okuggulawo amasomero
n'abawaayo n'obudde
AB'E MUKONO EBIZIMBE BIBAMALA:
Efrance Nakisozi akulira
Kisowera Primary School yategeezezza
nti beetegese bulungi.
Agamba nti omulimu ogwabwe
gwa kuteekawo eby'okunaaba mu
ngalo wabula basuubira abayizi
okujja ne masiki.
Ate Dinah Grace
Nakabuye akulira
Kisowera SS agamba
nti ne bw'obagamba
okuggulawo olwaleero
beetegefu. Ebibiina
bye balina bisobola
okutuuza abayizi ba
S4 ne S6 nga beesudde
amabanga
Sentebe w'e kibiina
ekigatta amasomero
g'obwannannyini e
Mukono, Nicholas
Bwire, agamba nti balina
bingi ebibasoomooza
ebigenda okubalemesa
okutuukiriza ebirina
okugobererwa. Enjala
yaakubaluma kubanga bizinensi
ezimu ze babadde
bakolagana nazo okufuna
ebikozesebwa zaasigala
zibanja.
SSAABALABIRIZI ALAGIDDE
AMASOMERO G'EKKANISA
Ssaabalabirizi
w'ekkanisa ya
Uganda Stephen
Kazimba yalagidde
amasomero g'ekkanisa ku mitendera
gyonna okukolera awamu ne
minisitule y'ebyenjigiriza okulaba
nga bateeka mu nkola ebibalagirwa.
Amasomero g'ekkanisa
gajja kulambikibwa ekitongole
ky'ebyenjigiriza mu pulovinsi
y'ekkanisa ya Uganda.
UNEB YEETEGESE
Omwogezi wa UNEB, Jeniffer
Kalule Musamba, yategeezezza nti
nabo bakolera wansi wa minisitule
y'ebyenjigiriza era mu kiseera kino
balinze ebawabule ku nteekateeka
eddako kyokka essuubi weeriri
nti wiiki eno w'eneggweerako
nga bategeezezza amasomero,
abazadde n'abayizi ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...