TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini balaze engeri gye bagenda okuggulawo amasinzizo

Bannaddiini balaze engeri gye bagenda okuggulawo amasinzizo

Added 22nd September 2020

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu abagoberezi obutakwatibwa Corona nga bagoberera ebiragiro bya gavumenti ne bya minisitule y’eby’obulamu eby’okwetangira corona.

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

NAMIREMBE

Ssaabalabirizi wa kkanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu yasinzidde mu lukuhhaana lw'abamawulire mu maka ge e Namirembe n'ategeeza nga bwe beetegese okugoberera ekiragiro kyokka n'asaba minisitule y'ebyobulamu okubakkiriza okukozesa entimbe mu makanisa n'ebweru wagwo okusoobozesa abantu abawerako okwetaba mu kusinza kuno.

Yagambye nti amakanisa naddala ag'omu bibuga gasobola okutuuza abantu abasoba mu 70 nga tebamenye biragiro n'asaba abakugu okukitunulamu.

Dr. Kazimba yagambye nti bagenda kukendeeza ku budde bwe babadde bamala mu kusaba n'okwongeza ku pulogulaamu z'okusabisa kisobozesa abantu abawerako okukuhhaana kwe banaagatta emikutu gy'ebyempuliziganya nga bwe kibadde okuli leediyo, ttivvi n'emikutu gya yintanenti.

Eggulo ku Mmande, Rev. Moses Kayimba okuva mu busumba bw'e Namasuba bwe yakulembedde okulambula obusumba bw'e Mpererwe okukakasa nti ebyetaagisa okulwanyisa Corona biteekeddwa mu nkola yasinzidde ku kkanisa ya St. Stephen's ey'obusumba bw'e Mpererwe n'akuutira Abakristaayo okuteeka ebiragiro n'obukwakkulizo bw'omukulembeze mu nkola, engeri gye yatadde amasinzizo.

LUBAGA

Rev. Fr. Joseph Mukasa Nkeera avunaanyizibwa ku by'amawulire mu ssaza Ekkulu erya Kampala yasabye Abakristu obutabuguumirira olw'ekiragiro kya pulezidenti wabula basigale nga bakkakkamu nga bwe bagoberera entereeza enaabaweebwa ba bwannamukulu baabwe mu bigo.

ABALOKOLE BEEJAGA

Omutume Dr. Joseph Sserwadda akulira enzikiriza y'Abalokole mu ggwanga yategeezezza nti batandikiddewo okusabisa abantu ng'ebiragiro bwe byayisiddwa era nga bagenda kukikola nga bayita mu kubeera n'okusaba okw'enjawulo okusoobozesa abantu abawerako okukwetabamu buli lunaku.

ABASODOKISI

Rev. Fr. Paul Mutaasa viika genero w'Abosodokisi mu Eklesia yagambye nti bagenda kuteekawo ebitabo ne nnamba ku buli ntebe okusobola okulonda Abakristu abaneetaba mu mmisa zino.

KIBULI

Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa yagambye nti bagenda kumala kutuula ng'abakulembeze basalewo ebigenda okukolebwa nga tebanaggulawo mizikiti.

KAMPALA MUKADDE

Hajji Ramathan Mugalu ssaabawandisi wa Uganda Muslim Supreme Council yagambye nti beetegefu okugondera ebiragiro ebyayisiddwa era n'asaba abaddu ba Allah okubigoberera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....