TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkoko z'ennyama 100, zikukolera ssente mu nnaku 35

Enkoko z'ennyama 100, zikukolera ssente mu nnaku 35

Added 22nd September 2020

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona, enkoko z'ennyama y'emu ku bizinensi z'osobola okuyitamu okufuna ssente.

Hajji Musa ng'annyonnyola

Hajji Musa ng'annyonnyola

EZ'ENNYAMA

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona, enkoko z'ennyama y'emu ku bizinensi z'osobola okuyitamu okufuna ssente.

Okulunda enkoko 100, weetaaga ekiyumba kya bugazi bwa fuuti 10 ku 15. Wabula obugazi bwe bumu busobola okutwala enkoko 150.

Ebiriirwamu 5 nga bigula wakati wa 7,000/- ne 30,000/-

Ebinywero bibiri ebya otomatiki ku 50,000 ate ebyabulijjo mukaaga ku 6,000/-.

Mu bbuluuda enkoko zandimazeemu wiiki emu ng'okozesa ensawo z'amanda ssatu buli emu ku 80,000/-. Obukoko 100 bujja kubeera mu kasenge ka bbuluuda ka fuuti 5 ku 5.

Akakoko akamu kagula wakati wa 1,500/- ne 2,000/- okusinziira ku lulyo ne kkampuni gy'oguzeeko nga kalina okuzitowa wakati wa 35 ne 40gms.

Buli nkoko egenda kukwetaaza 350/- okugema.

Buli kkiro ku mmere gy'oguze ejja kuba wakati wa 1,400/- ne 2,400/-.

Okumala ennaku 10 zirya Starter.  Buli kakoko kalya wakati wa gulaamu 250 ne 500 era nga buli kkiro egula wakati wa 1,800/- ne 5,200/-

Okuva ku nnaku 11 okutuusa ku 22 zirya Growers, kalina okuba nga kawezezza 800gms. Enkoko erya wakati wa kkiro emu n'ebbiri nga kkiro 1,500/- oba 2,800/-.

Okutandika ku lunaku lwa 23 okutuuka ku lwa 35 oziwa Finisher ng'erina okuba ezitowa kkiro emu n'ekitundu. Buli nkoko erya wakati wa kkiro ssatu n'ennya (3-4) nga kiro egula wakati wa 1,500/- ne 2,500/-.

Singa enkoko ozisala nnyama, buli kkiro ya 9,000/- nga kitegeeza buli nkoko egifunamu 13,500/- olwo 100 n'ofunamu 1,350,000/- mu nnaku 35. Bw'oyita ku luuyi olw'okukekkereza okozesa ssente ezitawera 1,000,000/-. Wano mu Kampala omuntu bw'akuwola akakadde aba ayagalamu  200,000 mu mwezi, so nga ggwe mu kakadde ko ofunyeemu ezigenda mu 400,000/-. Ate gy'okoma okulunda ennyingi gy'okoma okufuna.

Zino zibadde 100. Oli wa ddembe okutandika ne 500 oba 1000, okusinziira ku busobozi bwo. Ku 500 oba otunuulidde 6,750,000/- ate ku 1,000 oba onoonya 13,500,000/-.

EBIKULU BY'OLINA OKWETEGEREZA

Wabula ebikulu ennyo ky'olina okussaako essira kwe kufuna olulyo olutuufu, emmere entuufu, okugoba  endwadde ku faamu, n'okuba n'akatale akaabuliwo.

Bikung'aanyiziddwa Herbert Musoke okuva ku Ssaalongo Robert Sserwanga owa Agrarian Systems.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...