TOP

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'amagi

Added 22nd September 2020

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu okubiika, era ne zibiikira ebbanga lye ziteekeddwa.

ENKOKO z'amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng'ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu okubiika, era ne zibiikira ebbanga lye ziteekeddwa.

Ekiyumba n'ebikozesebwa

Enkoko z'amagi 100 zigenda mu kiyumba kya bugazi bwa fuuti 10 ku 15. (ssente zikyuka okusinziira ku kifo w'oli ne by'okozesezza mu kuzimba).

Ebiriirwamu 5, ekinywerwamu kimu ekya otomatiki, naye bw'okola ebyabulijjong'okozesa bidomola bijja kuba bisatu n'ekibiikirwamu kimu……………

Obukoko 100 bujja kubeera mu kasenge ka bbuluda ka mita 5 ku 5.

EMMERE

Endiisa y'enkoko ez'amagi erimu mitendera esatu okuli; obuto (chicks), obwa wakati (grower) n'ezibiika (layer), wano buli mutendera gulina ebyagwo.

Akakoko akamu kagula wakati wa 2,800/- ku 5,200/- okusinziira ku lulyo ne kkampuni g'oguze.

Muno zijja kumalamu wiiki 4 nga zirya ‘Chick and duck' nga buli kkiro eri wakati wa 1,400/- ne 2,400/-.

Olina okuzigema endwadde ezenjawulo okuli New Castle, Malex ne Gombolo. Okugema kwonna buli nkoko ojja kugisaasaanyizaako 500/- olwo ekikumi kitwale 50,000/-.

Ku wiiki 9-18, tandika okuziwa Growers ng'ejja kulya kkiro 5 ku 6 nga buli kkiro eri wakati wa 900/- ku 1,200/-. Okutwalira awamu, mu kiseera kino okuva lwe waleeta enkoko okutuusa lw'ebiika ejja kuba eridde 15,000/- ku 19,000/-.

Bwe zituuka ku bitundu 10 ku 100, mu kubiika, ozizza ku ‘Layers Mash' kyokka bwe zituuka ku bitundu 50 ku 100 tutandika okuzipimira emmere. Buli emu erya 120gm ku 150gm olunaku ng'egula 1,000 ku 1,300/- buli kkiro.

Mu wiiki enkoko ejja kulya gulaamu 875 ku 1,050, omwaka enkoko ejja kulya kkiro 45 ku 60.

Enkoko obulamu bwayo ebiika wakati w'amagi 250 ne 300 nga ze ttule 8.3 oba 10. Singa otunda 8,000/- buli ttule obeera ofunye 64,000/- oba 80,000/-. Olwo mu nkoko 100 n'ofuna 6,400,000/- ne 8,000,000/-. Ate nazo bw'ozitunda 10,000/- buli emu nga zikaddiye, osikayo kakadde ko.

Atandika tandika n'entono, eyeesobola 500 si mbi kyokka ne 1,000 lusoboka. Olwo mu miwendo gy'omugatte gwe tukoze okubiseemu 10 ate ng'ebikozesebwa bikendeeera olw'omuwendo omunene kw'ogulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...