TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulogulaamu y'ebigezo bya PLE, S4 ne S6 efulumye

Pulogulaamu y'ebigezo bya PLE, S4 ne S6 efulumye

Added 23rd September 2020

GAVUMENTI efulumizza kalenda y’amasomero. Abayizi ba P7, S4 ne S6 bwe banaddayo nga October 15, olwo UNEB etandikirewo nga October 16 okuwandiika abanaakola ebigezo okumala wiiki ttaano.




Ebigezo bya PLE byakukolebwa ennaku bbiri nga March 30, 2021 ne March 31; ebya S4 bitandika nga March 1, 2021 okutuuka April 6, 2021 ate ebya S6 bitandika nga April 12, 2021 okutuuka May 3, 2021. Taamu eyookubiri etandika October 15 okutuuka December 18, 2020. Taamu eyookusatu etandika January 11, 2021 okutuuka April 30, 2021.

Abayizi bonna abali awaka bagenda kusomera waka. Bajja kuddayo ku masomero kukola bigezo ebibatwala mu bibiina ebiddako.

Kyokka bano okuddayo kijja kusinziira ku ngeri abayizi ba P7, S4, S6 n'abamatendekero aga waggulu abali mu mwaka ogusembayo gye banaagoberera amateeka ga corona. Abaana bonna abaddayo, Gavumenti ejja kubawa masiki bbiri buli omu okusobola okutangira corona okubakwata.

Bino byayogeddwa Minisita w'Ebyenjigiriza Maama Janet Museveni mu kafubo ne ttiimu ya bannamawulire ba Vision Group abaakulembeddwa omukuhhaanya w'oku ntikko Muky. Barbara Kaija mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero.

Yabadde n'abakungu okuli Ssaabawandiisi wa UNEB, Dan Odongo eyayanjudde kalenda y'okukola ebigezo. Abalala ye muwandiisi ow'enkalakkalira Alex Kakooza, Dayirekita w'ebisomesebwa mu siniya Hajji Ismail Mulindwa.

Kiddiridde Pulezidenti Museveni okulangirira ku Ssande nti abaana abali mu P7, S4 ne S6 n'abali mu mwaka gw'akamalirizo ogusembayo mu matendekero aga waggulu bajja kuddamu nga October 15, 2020.

Eby'okusoma kw'ebibiina ebirala bijja kumanyibwa January wa 2021 w'anaatuukira. Muky. Museveni yagambye nti buli muyizi Gavumenti egenda kumugulira masiki bbiri.

Kino kigenda kukolebwa ku bayizi abali mu masomero ga Gavumenti n'ogobwannannyini. Kyokka amasomero nga tegannaba kuddamu gagenda kusooka kulambulwa bakakase oba nga galina ebisaanyizo ebibasobozesa okusomera mu mbeera etali ya bulabe.

Kyokka n'abayizi abali ewaka tebeerabiddwa kuba Gavumenti egenda kugaba leediyo obukadde mwenda. Zigenda kuweebwa amaka gonna omuli abayizi mu ggwanga.

Ebisomesebwa by'abayizi abali mu nnasale, P1, P2 ne P3 byamaze okutegekebwa era ekiseera kyonna bigenda kuweerezebwa abayizi nga bimaze okuzzibwa mu nnimi z'ekinnansi.

Abayizi abaliko obulemu okuli abatalaba n'abatayogera nabo babategekedde eby'okusoma nga bakozesa obubonero era bibatuukako ekiseera kyonna.

Abayizi abagenda okusigala awaka, kirowoozebwa nti bajja kusobola okubanguka obulungi nga bakozesa ebisomesebwa ebinaaba bibaweereddwa. Bwe baneekenneenya nga bayize, bonna bajja kuyita butereevu okugenda mu bibiina ebirala.

Oluvannyuma lw'omwezi gumu ng'amasomero gazzeemu bajja kwekenneenya obusobozi bwago okulaba engeri gye banaaba beetegeseemu balabe oba nga basobola okukkiriza abayizi abakyali awaka nabo okubeegattako. Ettaamu zonna essatu zijja kusomebwa. Ettaamu yookubiri etandika October 15 bawummule nga December 18.

Ettaamu eyookusatu etandika January 11 era muno mwe banaakolera ebigezo. Abaana abali awaka nabo we bajja okuddirayo bakole ebigezo ebibayisa okugenda mu bibiina ebiddako.

Entegeka zikoleddwa okulaba ng'amasomero gonna agayambibwako Gavumenti nga minisitule y'ebyensimbi egawa ssente ezigasobozesa okugula ebyetaago.

Janet Museveni yasabye abazadde obuteerabira nti obuvunaanyizibwa obukulu obw'okulaba ng'abaana basoma nga bali ku ssomero n'awaka buli mu mikono gyabwe. Yabasabye okuyamba ku bayizi nga basoma.

Pulezidenti yalangirira nga March 18, okuggalawo amasomero gonna nga March 20, 2020 oluvannyuma lw'obulwadde bwa Corona okuzinda eggwanga. Ensonda mu minisitule zaategeezezza nti amasomero gagenda kulambulwa okukakasa nga tebalina mujjuzo mu bibiina.

Ebifo nga abaana mwe baliira emmere ne mwe basomera ebitabo nabyo bijja kusomerwamu kuba ekibiina tebaagalamu bayizi basukka 70.

Ebintu ebirala ng'okweyambisa weema okusomeramu, n'okusomera mu bibangirizi kigenda kweyambisibwa ng'ebibiina okusinga abayizi okubakuumira mu bibiina munda ebitayisa bulungi mpewo.

Kyokka amasomero n'amatendekero agalina abaana abayizi abangi balagiddwa okukola entegeka abamu basome ku makya ate abalala olw'eggulo.

GAVUMENTI efulumizza kalenda
y'amasomero. Abayizi ba P7, S4
ne S6 bwe banaddayo nga October
15, olwo UNEB etandikirewo
nga October 16 okuwandiika
abanaakola ebigezo okumala wiiki
ttaano.
Ebigezo bya PLE byakukolebwa
ennaku bbiri nga March 30, 2021
ne March 31; ebya S4 bitandika
nga March 1, 2021 okutuuka
April 6, 2021 ate ebya S6 bitandika
nga April 12, 2021 okutuuka
May 3, 2021.
Taamu eyookubiri etandika October
15 okutuuka December 18,
2020. Taamu eyookusatu etandika
January 11, 2021 okutuuka April
30, 2021.
Abayizi bonna abali awaka
bagenda kusomera waka. Bajja
kuddayo ku masomero kukola
bigezo ebibatwala mu bibiina
ebiddako. Kyokka bano okuddayo
kijja kusinziira ku ngeri abayizi
ba P7, S4, S6 n'abamatendekero
aga waggulu abali mu mwaka
ogusembayo gye banaagoberera
amateeka ga corona.
Abaana bonna abaddayo, Gavumenti
ejja kubawa masiki bbiri
buli omu okusobola okutangira
corona okubakwata.
Bino byayogeddwa Minisita
w'Ebyenjigiriza Maama Janet
Museveni mu kafubo ne ttiimu ya
bannamawulire ba Vision Group
abaakulembeddwa omukuhhaanya
w'oku ntikko Muky. Barbara
Kaija mu maka g'Obwapulezidenti
e Nakasero.
Yabadde n'abakungu okuli
Ssaabawandiisi wa UNEB, Dan
Odongo eyayanjudde kalenda
y'okukola ebigezo. Abalala ye
muwandiisi ow'enkalakkalira
Alex Kakooza, Dayirekita
w'ebisomesebwa mu siniya Hajji
Ismail Mulindwa.
Kiddiridde Pulezidenti Museveni
okulangirira ku Ssande nti
abaana abali mu P7, S4 ne S6
n'abali mu mwaka gw'akamalirizo
ogusembayo mu matendekero
aga waggulu bajja kuddamu nga
October 15, 2020. Eby'okusoma
kw'ebibiina ebirala bijja kumanyibwa
January wa 2021
w'anaatuukira.
Muky. Museveni yagambye nti
buli muyizi Gavumenti egenda
kumugulira masiki bbiri. Kino
kigenda kukolebwa ku bayizi
abali mu masomero ga Gavumenti
n'ogobwannannyini.
Kyokka amasomero nga tegannaba
kuddamu gagenda kusooka
kulambulwa bakakase oba nga
galina ebisaanyizo ebibasobozesa
okusomera mu mbeera etali ya
bulabe.
Kyokka n'abayizi abali ewaka
tebeerabiddwa kuba Gavumenti
egenda kugaba leediyo obukadde
mwenda. Zigenda kuweebwa
amaka gonna omuli abayizi mu
ggwanga.
Ebisomesebwa by'abayizi abali
mu nnasale, P1, P2 ne P3 byamaze
okutegekebwa era ekiseera
kyonna bigenda kuweerezebwa
abayizi nga bimaze okuzzibwa mu
nnimi z'ekinnansi.
Abayizi abaliko obulemu okuli
abatalaba n'abatayogera nabo
babategekedde eby'okusoma nga
bakozesa obubonero era bibatuukako
ekiseera kyonna.
Abayizi abagenda okusigala
awaka, kirowoozebwa nti bajja kusobola
okubanguka obulungi nga
bakozesa ebisomesebwa ebinaaba
bibaweereddwa. Bwe baneekenneenya
nga bayize, bonna bajja
kuyita butereevu okugenda mu
bibiina ebirala.
Oluvannyuma lw'omwezi gumu
ng'amasomero gazzeemu bajja
kwekenneenya obusobozi bwago
okulaba engeri gye banaaba
beetegeseemu balabe oba nga
basobola okukkiriza abayizi
abakyali awaka nabo okubeegattako.
Ettaamu zonna essatu zijja
kusomebwa. Ettaamu yookubiri
etandika October 15 bawummule
nga December 18. Ettaamu
eyookusatu etandika January
11 era muno mwe banaakolera
ebigezo.
Abaana abali awaka nabo we
bajja okuddirayo bakole ebigezo
ebibayisa okugenda mu bibiina
ebiddako.
Entegeka zikoleddwa okulaba
ng'amasomero gonna agayambibwako
Gavumenti nga minisitule
y'ebyensimbi egawa ssente ezigasobozesa
okugula ebyetaago.
Janet Museveni yasabye abazadde
obuteerabira nti obuvunaanyizibwa
obukulu obw'okulaba
ng'abaana basoma nga bali ku
ssomero n'awaka buli mu mikono
gyabwe. Yabasabye okuyamba ku
bayizi nga basoma.
Pulezidenti yalangirira nga
March 18, okuggalawo amasomero
gonna nga March 20, 2020
oluvannyuma lw'obulwadde bwa
Corona okuzinda eggwanga.
Ensonda mu minisitule zaategeezezza
nti amasomero gagenda
kulambulwa okukakasa nga
tebalina mujjuzo mu bibiina. Ebifo
nga abaana mwe baliira emmere
ne mwe basomera ebitabo nabyo
bijja kusomerwamu kuba ekibiina
tebaagalamu bayizi basukka 70.
Ebintu ebirala ng'okweyambisa
weema okusomeramu,
n'okusomera mu bibangirizi kigenda
kweyambisibwa ng'ebibiina
okusinga abayizi okubakuumira
mu bibiina munda ebitayisa bulungi
mpewo.
Kyokka amasomero
n'amatendekero agalina abaana
abayizi abangi balagiddwa okukola
entegeka abamu basome ku
makya ate abalala olw'eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...