TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kitegeeza ki Latif okuva mu kalulu ka Loodi Meeya

Kitegeeza ki Latif okuva mu kalulu ka Loodi Meeya

Added 23rd September 2020

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya nti Latif okuvuganya Erias Lukwago bajja kuba bagabanya mu bululu ekiyinza okubafiiriza ekifo.

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Ensonda zaategeezezza nti bakkaanyizza abooludda oluvuganya bawagire Lukwago ku kya Loodi Meeya. Latif avuganye ku kya mubaka wa Palamenti ya East Afrika.

Kyokka ab'enkambi ya Jose Chameleone abadde avuganya ne Ssebaggala ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP) bagamba nti Latif okuvaamu kiwadde omuntu waabwe enkizo.

Latif abadde yaakalondebwa okuvuganya ku kya Loodi Meeya ku kaadi ya NUP ng'asinze Chameleone. Latif akiikirira Kawempe North mu palamenti yategeezezza eggulo nti avudde mu lwokaano olw'okunyweza obumu mu ludda oluwakanya Gavumenti.

Yetondedde aba NUP abaamulangiridde ku Lwomukaaga okubakwatira bendera bamusonyiwe okubayiwa. Ssebaggala yasooka kuva mu lwokaano lw'okuddamu okukiikirira Kawempe North.

CHAMELEONE ANAAKWATA BENDERA YA NUP?

Abatunuuli b'ebyobufuzi bagamba kijja kuba kizibu oluvannyuma lwa NUP okutegeeza nti beetegerezza empapula ze nga mpewufu.

Francis Zaake (mubaka wa munisipaali y'e Mityana) era omu ku batandisi ba People Power yategeezezza Bukedde nti baasalawo okuwa Ssebaggala kkaadi kubanga anywerera ku nsonga okusinga Chameleone akyukakyuka.

Leero bw'abeera mukatoliki enkya mulokole, enkeera Musiraamu. Latif w'aviiridde mu lwokaano ng'abaava mu DP okwegatta ku NUP okuli Betty Nambooze, Medard Lubega Ssegona, Mathias Mpuuga bagamba nti buli ekibiina okugeza FDC we kirina omuntu ow'amaanyi bog we bajja okuwagira.

Ne bagamba nti ku kya loodi meeya bali ku Lukwago; ekya Kampala Central ku Muhammad Nsereko e Kira ku Semuju Nganda.

Latif okuvuganya Lukwago kyandibadde kiraga abooludda oluvuganya ng'abatamanyi kubala byabufuzi kubanga olwo kiwa wa NRM enkizo. NRM yaakusimbawo Raga Dee.

Ekirala kyongera okubatemaatemamu. Ku ludda olulala kijja kutegeeza buli omu okunoonya ttiimu emukolera so nga balina kukolera wamu okwang'anga NRM.

Abooludda oluwabula Gavumenti obuteevuganya ku kifo kimu kyali ku mwanjo mu nteeseganya za Bobi Wine ne Kizza Besigye owa FDC. Kiki ekiddako eri Chameleone Akulira kampeyini za Chameleone, Henry Lubowa agamba nti Ssebaggala k'avudde mu lwokaano kati kkaadi ya NUP yaabwe.

OMWOGEZI WA NUP ATANGAAZIZZA

Omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi yategeezezza Bukedde nti okumma Chameleone kkaadi baamaze kwebuuza ku balonzi abaabalaze ng'akyabulamu okufuuka Loodi Meeya.

BANNABYABUFUZI KYE BAGAMBA

Israel Mayengo Okusalawo kwa Ssebagala kulungi si ku ludda oluwabuzi lwokka wabula eri buli muntu ayagala okuvuganya ku kifo ky'obukulembeze nti ssinga olaba munno alina enkizo okukusingako omulekera.

Bonna abavuganya basaana okukiyiga kuba kiraga omuntu atalina mulugube mu byabufuzi era kijja kuyamba eggwanga n'abalonzi kuba nabo ebiseera ebisinga basoberwa omutuufu gwe balina okulonda.

Sulaiman Kidandala Omu ku bakwanaganya emirimu mu NUP yagambye abakulu baatudde okusalawo ekiddako era kya kulangirirwa ssaawa yonna.

Medard Lubega Ssegona(Busiro East) Ssebaggala kye yakoze kyatusanyusizza bonna mu NUP n'abalala abali ku ludda oluwabula Gavumenti. Kyongedde amaanyi mu nteseganya ze tulimu.

Bakoze kya kisajja-kikulu okijjudde okwebuulirira ate kigenda kwanguyaako enteeseganya ezigenda mu maaso okulaba nga tukwatagana bulungi.

LATIF Ssebaggala okuva ku
kuvuganya ku kifo kya Loodi
Meeya kiddiridde enteeseganya
z'abavuganya Gavumenti ne
bakkaanya nti Latif okuvuganya
Erias Lukwago bajja kuba
bagabanya mu bululu ekiyinza
okubafiiriza ekifo.
Ensonda zaategeezezza nti
bakkaanyizza abooludda oluvuganya
bawagire Lukwago ku kya
Loodi Meeya. Latif avuganye ku
kya mubaka wa Palamenti ya
East Afrika.
Kyokka ab'enkambi ya Jose
Chameleone abadde avuganya
ne Ssebaggala ku kkaadi ya
National Unity Platform (NUP)
bagamba nti Latif okuvaamu kiwadde
omuntu waabwe enkizo.
Latif abadde yaakalondebwa
okuvuganya ku kya
Loodi Meeya ku kaadi ya NUP
ng'asinze Chameleone.
Latif akiikirira Kawempe North
mu palamenti yategeezezza
eggulo nti avudde mu lwokaano
olw'okunyweza obumu mu ludda
oluwakanya Gavumenti.
Yetondedde aba NUP abaamulangiridde
ku Lwomukaaga
okubakwatira bendera bamusonyiwe
okubayiwa.
Ssebaggala yasooka kuva
mu lwokaano lw'okuddamu
okukiikirira Kawempe North.
CHAMELEONE ANAAKWATA
BENDERA YA NUP?
Abatunuuli b'ebyobufuzi
bagamba kijja kuba kizibu oluvannyuma
lwa NUP okutegeeza
nti beetegerezza empapula ze
nga mpewufu.
Francis Zaake (mubaka wa
munisipaali y'e Mityana) era
omu ku batandisi ba People
Power yategeezezza Bukedde
nti baasalawo okuwa Ssebaggala
kkaadi kubanga anywerera ku
nsonga okusinga Chameleone
akyukakyuka. Leero bw'abeera
mukatoliki enkya mulokole,
enkeera Musiraamu.
Latif w'aviiridde mu lwokaano
ng'abaava mu DP okwegatta
ku NUP okuli Betty Nambooze,
Medard Lubega Ssegona,
Mathias Mpuuga bagamba nti
buli ekibiina okugeza FDC we
kirina omuntu ow'amaanyi bog
we bajja okuwagira. Ne bagamba
nti ku kya loodi meeya bali ku
Lukwago; ekya Kampala Central
ku Muhammad Nsereko e Kira
ku Semuju Nganda.
Latif okuvuganya Lukwago
kyandibadde kiraga abooludda
oluvuganya ng'abatamanyi
kubala byabufuzi kubanga olwo
kiwa wa NRM enkizo. NRM

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...