TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga asasulidde abasibe okuva mu kkomera basuule Trump

Omugagga asasulidde abasibe okuva mu kkomera basuule Trump

Added 24th September 2020

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi bave mu kkomera balonde Joe Biden asobole okuwangula Pulezidenti Trump.

Trump ne Biden

Trump ne Biden

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n'asasulira abasibe 32,000 engassi bave mu kkomera balonde Joe Biden asobole okuwangula Pulezidenti Trump.

Michael Bloomberg 78, ayise mu kibiina ky'obwannakyewa ekya Florida Rights Restoration Coalition, n'asasula obukadde bwa doola 16 (mu za Uganda bbiriyoni 59 n'obukadde 167).

Kino akikoze mu limu ku masaza ag'enkizo agasalawo ani awangula akalulu ka Amerika era ng'essaza lino lye lyayamba Trump okuwangula Hillary Clinton mu kalulu ka 2016.

Olwamaze okusasulira abasibe ensimbi ez'engassi ezaali z'abasalirwa ne zibalema okusasula n'ategeeza nti eddembe ly'okulonda omukulembeze lya nkizo eri buli muntu era tewali ateekwa kusubwa kulonda ng'abadde asaanidde.

Essaza ly'e Florida baayisa etteeka mu 2018 erikkiriza omuntu ali mu kkomera okwewandiisa asobole okukuba akalulu wabula akkirizibwa okwewandiisa ng'amaze okusasula engassi eyamusalirwa kkooti etteeka lino baaliwakanya ne bagenda mu kkooti wabula kkooti ejulirwamu, wiiki ewedde yasaze omusango n'ekkiriza lisigalewo.

Wano Bloomberg we yasinzidde okusasulira abasibe bano basobole okuteekebwa ku lukalala lw'abalonzi balonde Biden avuganya ne Trump mu kalulu ka November 3, 2020.

Zino si ze ssente z'asoose okuteeka mu bavuganya Trump, yasooka okukwata obukadde bwa doola 100 mu za Uganda bbiriyoni nga 369 n'aziteeka mu nkambi ya Biden zisobole okubayambako okunoonya akalulu.

Bloomberg, ng'akwata kyamwenda mu bagagga mu nsi yonna buli lw'awa Biden ssente aziwereekerezzaako ebigambo ebikambwe ku Trump gw'ayita ekisajja ekitalina mulamwa.

Trump ne Bloomberg bombi bagagga ffugge nga ssente ze balina zibayitaba kyokka Bloomberg akubisaamu Trump ebitundu nga 40.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.