TOP

Engeri ebya Rukutana gye bikyuse n'awangula

Added 24th September 2020

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino mu disitulikiti y’e Ntungamo.

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya




Okusooka, Naome Kabaharira yeyali alangiriddwa kyokka aba Rukutana ne beemulugunya nti waaliwo okulondesa abantu ab'empewo.

Kalumannywera yali ku kyalo kimu aba Naome gye balumiriza nti teyali kulonda ate aba Rukutana nti kwaliyo. Tanga Odoi yakoze okunoonyereza n'azuula nti kituufu okulonda kwaliyo ku kyalo kino yadde abalonzi bano baali batono. Wano ebintu we byakyukidde era Rukutana akalulu n'akawuuta.

Rukutana yafunye obululu 25310 olwo n'awangula banne n'ebitundu 46.27%

Yaddiridwa munne gwabadde naye ennyo kumbiranyi Naome Kabasharira ono nga yafunye obululu 25290 era nga yafunye ebitundu 46.23%.

Odoi akulira akakiiko k'ebyokulonda mu NRM ye yamulangiridde eggulo ku kitebe kya NRM e Kyaddondo. Kati Rukutana y'agenda okukwatira ekibiina kya NRM bbendera mu kitundu kino mu kalulu ka 2021.

Abaasigadde abeetaba mu lwokaano luno kwabaddeko Elia Rwagara Mwesigwa ono nga yafunye obululu 256 era nga ye yasembye, Beingana Norman Kashereka yafunye 350 ,Bob Nahabwe yafunye 2270 ate ye Nicolus Niwahereza n'afuna obululu 1229 .

Dr. Tanga Odoi yagambye nti okulangirira ebyavudde mu kulonda kuno kyatutteko akaseera olw'ensonga nti baabadde balina okusooka okwetegereza n'okukola okunoonyereza okw'omuggundu olw'embiranyi ey'amaanyi wakati wa bannakibiina ababiri okuli minisita Rukutana ne Kabasharira nga buli omu kyenkana alumiriza munne okwagala okumutwalako obuwanguzi bwe.

Obutakkaanya obw'amaanyi bwali busigadde ku kyalo kya Nyakahita nga wano oludda lwa Rukutana lwali lugamba nti waaliyo okulonda ate olwa Naome nga lulumiriza nti tekwaliyo.

OKUNOONYEREZA KWA TANGA

Dr. Tanga Odoi yategeezezza nti mu kunoonyereza yabuuza abantu ab'enjawulo ku kyalo kuno okwali abakazi 42, abasajja 10 

n'abatamiivu 8.

Mu kunoonyereza kuno baamutegeeza nti okulonda kwaliyo yadde nga kwalimu emivuyo. Wano we yasinziride n'alangirira minista Rukutana nga omuwanguzi.

Abawagizi ba minisita Rukutana abaabaddewo ab'olubatu mu kulangirira kuno baalaze essanyu n'abamu ne batuuka n'okukaaba amaziga olw'essanyu nga beebaza Katonda olw'obuwanguzi.

Baategeezezza nti bayise mu bingi okutuuka ku buwanguzi. Akalulu kano kaalimu effujjo eritagambika, era Rukutana yakwatibwa olw'ebigambibwa nti yakuba omuntu essasi eryamuviirako okufa.

Yasimbibwa mu kkooti n'atwalibwa mu kkomera e Kitalya kyokka wiiki ewedde yeeyimirirwa n'ayimbulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.