TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi ne Kibalama bagasimbaganye mu kkooti ku nsonga z'ekibiina kya NUP

Bobi ne Kibalama bagasimbaganye mu kkooti ku nsonga z'ekibiina kya NUP

Added 25th September 2020

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa National Unity Platform (NUP) Moses Nkonge Kibalama yatuuse dda mu kkooti Enkulu okubaako ebibuuzo by'abuuzibwa ku ngeri ekibiina gye kyakyusibwamu.

Aba NURP bakwasa omubaka Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ekibiina kyabwe era ne bamulonda okubeera Pulezidenti waakyo kyokka abamu ku bammemba bavaayo be baloopa Kibalama, Bobi Wine n'abalala olw'okukyusa ekibiina kyabwe.

Kibalama yasooka n'ategeeza kkooti nti okukyusa ekibiina kyakolebwa mu mateeka kyokka oluvannyuma ne yeefuulira Bobi Wine n'agamba nti balooya be (Bobi) baamuwabya.

Kati Kibalama agenda kubuuzibwa kajjogijjogi w'ebibuuzo ku bujulizi obwokubiri bwe yawaayo ng'alumiriza balooya ba Bobi okuwabya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.