TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyatutte Kiwanda ne Nankabirwa ewa Katikkiro Mayiga

Ekyatutte Kiwanda ne Nankabirwa ewa Katikkiro Mayiga

Added 25th September 2020

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne Nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa ne beeyanjula ewa Katikkiro wa Buganda ne bamunnyonnyola ku nteekateeka za Pulezidenti Museveni okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu kalulu ka 2021.

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Kiwanda era nga ye minisita omubeezi ow'ebyobulambuzi owa Uganda yabadde ne Ruth Nankabirwa, eyaliko sipiika w'olukiiko lw'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika, Margaret Nantongo Zziwa, Hajjat Faridah Nambi ng'ono yaAkwatidde NRM bendera ku kifo ky'omubaka omukazi owa Kampala, Rogers Mulindwa nga ye mwogezi wa NRM n'abakungu abalala.

Kiwanda ne banne baakwasizza Mayiga ssemateeka w'ekibiina kya NRM, n'ebiwandiiko ebirala ebiraga ebituukiddwaako. Baasuubizza n'okumutwalira manifesito yaabwe eya 2021-2026 bweneefuluma.

Kiwanda yasuubizza nti emivuyo egyalabikidde mu kulonda kw'akamyufu k'ekibiina tegijja kuddamu kulabika ng'emu ku ntabwe yavudde ku nkalala z'abalonzi ezaabadde zitategekeddwa bulungi ate n'enkola empya ey'okusimba mu migongo.

Katikkiro Mayiga yagambye nti ekibiina ky NRM ekirabo kyekiyinza okulekera Uganda kwe kuteekawo okulonda okulabibwa n'omwana omuto nti kwa mirembe, amazima n'obwenkanya nga kino kyakukulaakulanya ebyobufuzi by'eggwanga.

"Nze ne bannange tulowooza nti ekyobugagga NRM kyesaana okulekera Uganda,kwe kulaba nti okulonda mu bibiina munda okutandikira ddala mu NRM ne mu kulonda okwa Uganda yonna kubeera kwa mirembe,mazima na bwenkanya. Sirowooza nti NRM erina ekintu kyesobola okulekera Uganda okusukka ekyo, ebirala bisobola okulinda," Mayiga bwe yategeezezza.

Katikkiro Mayiga yayise mu baminisita okwebaza Pulezidenti Museveni ne kabineti ye olw'okuddiza Obwakabaka emmotoka ekika kya Rolls Royce Ssekabaka Muteesa II gye atambulirangamu n'ategeeza nti Obwakabaka bwagala eddewo etambule.

N'alaga essuubi nti Gavumenti ejja kubayambako okugirabirira kubanga ebadde mu mikono gyayo okuva mu 1966.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...