TOP

Ow'emyaka 77 alumirizza mukazi we okumukuba

Added 25th September 2020

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso y’akigguddeko olwa mukyala we okumukuba n’amumenya amagulu ng’entabwe eva ku kumugaana kutunda bbulooka mutabani we ze yakuba amuzimbire ennyumba. Kamada Batulumaayo ye yakubiddwa mukwala we Reginah Nantale.

Nantale ne Batulumaayo

Nantale ne Batulumaayo





Batulumaayo yagambye nti Nantale amaze naye emyaka 22 kyokka enyumba mwe basula enaatera okubagwira nga kye kyavaako mutabani we, Paul Lubega okukuba bbulooka ababazimbire empya kyokka bwe zaawedde okwokya Nantale n'ayagala azitunde kwe kufuna obutakkaanya.

Yayongeddeko nti Nantale olwategedde nti bagenda kumutwala ku poliisi n'adduka awaka n'essimu ze ze n'aziggyako nga kati ye ali mu bulumi obw'amaanyi.

Wano w'asabidde abazirakisa okumudduukirira n'obuyambi kubanga talina wadde ekyokulya.

Lubega (mutabani waabwe) yagambye nti maama we azze atulugunya kitaawe nga bamulabula era nga naye kyamwewuunyisizza okulaba ng'akizzeemu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti Nantale bamunoonya avunaanibwe era n'asaba abafumbo abafunye obutakkaanya okugenda mu boobuyinza okufuna obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.