TOP

Eyawangudde mu kamyufu e Bushenyi afudde

Added 25th September 2020

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa mu buliri ng’afudde mu maka ge agasangibwa e Rwetondo, Kakoba-Mbarara.

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Nnamwandu Constance Bangirana bwe yabadde amwogerako mu kusaba okwabadde mu kkanisa ya Yunivasite ya Bishop Stuart yategeezezza nti okuva lwe baakomawo ng'okulonda kuwedde, omugenzi teyaddamu kubera bulungi wadde ng'abadde atawaanyizibwa ebirwadde okuli Sukaali ne Puleesa.

Yayongeddeko nti yagwa mu kinaabiro n'akosebwa kyokka omusawo we, Dr. Agaba n'amukolako era n'alabika nga ateredde kwe kumuzza ewuwe e Rwetondo.

Yagasseeko nti ku Ssande yatumya bannaddiini n'emikwano ne bamusabira kyokka n'afa enkeera ku Mmande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...

Emiranga n'ebiwoobe bisaani...

Emiranga n'ebiwoobe bisaanikidde ekkanisa y'omusumba Yiga eyavudde mu bulamu bw'ensi. ...