TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erung'amizza ku bibonerezo by'obusangosango

Poliisi erung'amizza ku bibonerezo by'obusangosango

Added 25th September 2020

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango obutono singa Ssemateeka wa Uganda abeera takyusiddwa mu bwangu ne baggyamu obusango obutono obuteetaagisa kusibibwa.
Egimu ku misango egyayogeddwako mulimu ogwokweyisa mu ngeri etategeerekeka ogumnayiddwa nga "common nuisance", okuteeberezebwa nti wandiba omubbi, okwonoona empewo okugeza  ng'otambula  owunya n'emirala.

Enanga yagambye nti emisango gino ku tteeka lya Penal Cord gikyalimu era bwe bakukwata fayiro n'etwalibwa ew'omuwaabi wa Gavumenti omukulu okugiyitmu n'akkiriza okuvunaanibwa poliisi ebeera erina okutwala mu kkooti era n'osibibwa mu kkomera omulamuzi bw'aba alagidde. 

Yagambye ku musango ng'ogwokubeera 'idle' Pulezidenti Museveni gwe yalagira bakome okukuguvunaana abantu mu tteeka lya Penal Cord gukyalimu ekitegeeza nti gukyabalibwa ng'omusango.

Bino Enanga yabyogeredde mu lukung'aana olwategekeddwa ab'ekitongole ky'obwannakyewa ekya Human Rights Awareness and Promotion Forum [HRAPF] nga bali wamu n'akakiiko akakwasissa eddemba aka Uganda Human Rights Commission [UHRC] mwe baabadde bakubaganyiza ebirowoozo n'ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo ku nsonga y'okuggya obusango buno mu tteeka lya Penal cord.

Ruth Ssekindi okuva UHRC yagambye nti obusango buno bwatandikibwawo abafuzi bamatwale nga bagala okunafuya, okuteeka wansi abaddugavu n'okubalaga nti bawansi nnyo ku bbo kyokka bukyanga Uganda efuna obwetwaze era ekyatambulira ku mateeka ge gamu agaali gassa wansi omuddugavu.

Yagambye nti n'engeri emisango gino gye gyawandiikibwa mu Penal Cord kizibu okuginnyonnyola omuntu n'agitegeera bulungi era bw'ogusomera omuntu gubeera tegukola makulu kubanga oyinza okusanga omuntu n'omuvunaana omusango gw'okwonoona empewo olwokuba awunya ng'ate akola mulimu gwa kwettika kasasiro.

Ye omubaka Asuman Basalirwa atuula ku kakiiko k'amateeka mu Palamenti yagambye nti Palamenti yali etandiise okuleeta ekiteeso ky'okukola ennongoosereza mu mateeka agamu kyokka Ssabawolereza wa gavumenti n'abaggyako omulimu guno ng'agamba nti ensonga eno be bagenda okugiwomanu omutwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...