TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Namasole wa Ssekabaka Mwanga bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe

Namasole wa Ssekabaka Mwanga bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe

Added 25th September 2020

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe ku luguudo lw'e Gayaza.

Nampewo yategeezezza Bukedde nti Majeeri bwe yafa mu 2015 olumbe lwayabizibwa oluvannyuma ne bamusumikira nga Namasole addako kyokka ebbanga lyonna abadde tayingizibwanga mu Lubiri lwe mu Butongole.

Waliwo abantu abamu nga n'abamu baana baalinako obuvunaanyizibwa ababadde basala amagezi okukyusa obwannannyini ku ttaka lye yasikira.

Yagambye nti Abalangira bazzukulu ba Kamanya e Kasengejje, Suuna e Wamala, Muteesa asooka ne Daudi Chwa akwataganye nao okulaba nga bamuyingiza Olubiri ku Lwokutaano lwa wiiki eno.

Namasole wa Ssekabaka Mwanga bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe

"Nkwataganye ne bazzukulu bange bantwale bannyinigize mu Lubiri lwa Baagalaayaze e Mpererwe ntandike okukola emirimu gya Namasole wa Mwanga mu butongole.

Yagambye nti waliwo abamu ku baana ababadde baagala okwekomya ekifo kino batunde nge bagamba nti kyali kya mugenzi Manjeeri ng'omuntu so nga kibeera kya nsikirano mu lubu lwa Banamasole.

Nampewo yagambye nti ye muwala wa Eriyeza Luseesa e Gomba, Bajjajabe Masimbi Ssebwato azaalibwa Ssekimwanyi e Muguluka Buddu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...

Emiranga n'ebiwoobe bisaani...

Emiranga n'ebiwoobe bisaanikidde ekkanisa y'omusumba Yiga eyavudde mu bulamu bw'ensi. ...

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...