TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakwatibwa ku by'omwana eyasalibwako omutwe asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi

Eyakwatibwa ku by'omwana eyasalibwako omutwe asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi

Added 25th September 2020

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Joseph Nuwashaba 22 nga mutuuze ku kyalo Kijjabwemi mu ggombolola ya Kimaanya Kyabakuza e Masaka yaleeteddwa mu kkooti akawungezi ka leero oluvannyuma lw'abaserikale okuva mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango okuva e Kampala okumuleeta mu kkooti e Masaka awerennembe n'emisango egimuvunaanibwa.

Ono asimbibwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento e Masaka Grace Wakooli n'amusomera  emisango esatu okuli; ogw'okutta, okukabassanya saako n'okuwamba n'ekigendererwa eky'okusaddaaka omwana era amugaanyi okubaako ne ky'ayogera ng'agamba nti emisango gyonna egimuvunaanibwa gya nnaggomola nga girina kuwulirizibwa mu kkooti Enkulu bw'atyo n'amusindika ku alimanda okutuusa nga 12/10/2020.

Kigambibwa nti Nuwashaba emisango gyonna yagizza nga 13/09/2020 bwe yakozesa omwana Faith Kyamagero, oluvannyuma n'amutta ate n'amala n'apakira omulambo gwe mu bookisi n'aguleeta mu Palamenti agukwase sipiika wa Palamenti.

BYA PHIONA NANNYOMO

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.