TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulimu gw'okuddaabiriza Nkumba Primary School guli mu ggiya nnene

Omulimu gw'okuddaabiriza Nkumba Primary School guli mu ggiya nnene

Added 26th September 2020

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino nga nagitaddemu ensimbi 11,799,000/- zebakwasizza abakulira essomero lino olunaku lwa leero e Nkumba- Ntebe mu Wakiso.

Mu mutendera guno mugenda kuyooyootebwamu ekifo awajjanjabirwa abaana ng'omulimu guno bagutaddeko ensimbi 3,900,000/-, okuteeka amaddirisa n'endabirwamu mu kizimbe kya P4, okuddaabiriza ekizimbe kya kantiini wamu n'okuddamu okusiiga langi ku mabaati.

Omumyuka wa Ssentebe w'Ekibiina Kino Richard Ssenoga y'akulembeddemu banne ne bakwasa omukulu w'essomero lino Marjorie Kalemeera ceeke era n'ategeeza nti okuva lwebatandika eddimu ly'okuddabiriza Nkumba P/S nga August 4,2020 okutuuka leero bakasasanya ensimbi obukadde 38,912,500/-. Ssenoga agambye nti basazeewo okutereeza Sick Bay okutumbula obulamu bw'abayizi abeeteekateeka okukomawo okuddamu okusoma nga October 15,2020.

Mu bubaka obusindikiddwa Ssentebe w'Ekibiina kino Geoffrey Ssekisonge mu kiseera kino ali e Bungereza bugambye nti buno buwanguzi bw'amaanyi eri bbo ng'abayizi okuba nti basobodde okusonda ensimbi zino okuzzaawo ekitiibwa ky'essomero lyabwe nga terigenda kusanga kizibu mu kuddamu okuggulawo okusomesa abaana n'eggwanga era n'ategeeza nti bwebanamaliriza omulimu guno bagenda kuzzaako okukola ebyo ebibazimbiramu awamu nga Bannankumba okusobola okwekulakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...