TOP

Seya bye yalese abuulidde Bukedde

Added 28th September 2020

NASSER Ntege Sebaggala bwe yabadde tannaweebwa kitanda mu ddwaaliro gye yafiiridde yayogedde ne Bukedde. Abasasi ba Bukedde KIZITO MUSOKE ne JOSEPH MUTEBI baamusanze mu maka ge e Munyonyo era bino bye byabadde mu kafubo kano;

Sebaggala ng’annyonnyola.

Sebaggala ng’annyonnyola.

Akalulu ka 2021 akataliimu kukuba nkuhhaana ani akafunamu ?

Bannabyabufuzi naddala abooludda oluvuganya bansobera! Mu kifo ky'okwetegekera akalulu, amaanyi bagatadde mu kutegeeza bwa batajja kwetaba mu kulonda. Boogera bya Corona. Amateeka ga Corona ebitundu 95 ku buli 100 tegajja kussibwa mu nkola. Gajja kukoma mu bigambo kubanga ebyobufuzi gubeera muyaga ogukunta nga tolina bw'oguziyiza.

NRM y'esinga okwetaaga enkung'aana kubanga ababaka baayo beetaaga okuyambibwako Pulezidenti mu kampeyini n'okufuna omudidi ogubapokerwa mu kampeyini.

Abavuganya temuddamu ensobi ya Dr. Kizza Besigye eyategeeza abawagizi be nga bw'atajja kwetaba mu kulonda ssinga amateeka tegakyuse. Bwe yajja okwesimbawo baamuwagira kuba baali bamwagala kyokka bangi nga tebeewandiisa.

Olwo abakuwakanya okudda mu byobufuzi obawa magezi ki?

Bannabyabufuzi baffe bakyakayiga ye nsonga lwaki osanga abeesimbawo ate nga be bavunAanyizibwa okutegekera ebibiina byabwe akamyufu. Ekyo kikyamu. Kye balina okukola kwe kulaga bwe beetegese nga bakozesa omukisa gw'abavubuka abangi ababeera ku ‘social media' okutuusa obubaka bwabwe.

Ne bwe banaawera nti tebajja kwetaba mu kulonda balimba. Bajja kwesimbawo kuba ebyobufuzi baagufuula mulimu mwe baggya eky'ok ukulya.

Enzirukanya y'ekibuga Kampala ogigeraageranya otya ne we wakirekera?

We nnabeerera mmeeya etteeka lyali limpa obuyinza obutafaananako nga Lukwago afugira mu tteeka lya KCCA eryassaawo Executive Director ne minisita wa Kampala abaddukanya ekibuga. Mu bufunze oyinza okugamba nti pulezidenti ye meeya wa Kampala kubanga ne bajeti y'ekibuga bagiteeseza mu Palamenti.

Ku Lukwago, Latif Ssebaggala, Godfrey Nyakaana ne Chameleon ani asaanira okuba Loodi Mmeeya? Bonna bakyakayiga mu byobufuzi n'ensonga za Kampala tebazitegeera kiwanvu. Ekibuga kyetaaga omuntu alina omukululo mu Kampala okugeza nze nnazaalibwa Kisaasi, ne nkolera e Nakasero era buli kimu kibaddewo nga ndaba. Ekiriwo kati abantu batabikiriza ebyobufuzi mu buli nsonga ne beerabira nti abantu beetaaga buweereza.

Ky'ogamba ne muganda wo Latif Ssebaggala naye tannatuuka kubeera Loodi mmeeya?

Latif abadde azimbiddwa bulungi kuba obukulembeze yabutandikira ku LC 1, n'adda ku Ggombolola okutuusa lwe yafuuka omubaka.

Kyankoze bubi bwe nnawulidde nti ate yabivuddeko n'asalawo okuddayo ku bubaka bwa Palamenti.

Nja kumuyita ambuulire kwe yasinzidde okusalawo bwatyo( Latif yalangirira okuvuganya ku kya loodi meeya n'akyusa adde mu palamenti, Yaddamu n'akyusa adde ku kya loodi meeya kyokka wiiki ewedde n'alangirira nti avudde mu lwokaano.

Ani asinga enkizo ku bazze okuvuganya Museveni

Bobi Wine mmulabamu enkizo y'okuba nga tava mu kitundu kya bugwanjuba eva Pulezidenti n'abasinga abamuvuganya gye bava. Guno mukisa munene eri Buganda kubanga bukya nva mu byobufuzi eby'okuvuganya tewali mulala yali avuddeyo ng'alimu embavu ng'ava mu Buganda

Ekyokubiri Bobi Wine muvubuka okufaanana n'abalonzi abasinga obungi kuba bawuliziganya bulungi era y'ategeera abavubuka bye balya ne bye banywa.

Amagezi ge mpa Bobi Wine, amaanyi agasse nnyo mu kusimbawo abantu ku bifo ebirala ng'ababaka ba Palamenti n'abakulembeze ba disitulikiti. Kino kijja kumutaasa ku bamulwanyisa amaanyi bagasse ne ku bantu abalala.

Besigye?

Amagezi ge mmuwa abiveeko adde emabega wa Bobi Wine kuba buli muntu tasobola kubeera Pulezidenti. Agezezzaako era abantu bamuwagidde kyokka n'atasobola kubatuusa ku buwanguzi.

Gen. Mugisha Muntu?

Oyo kyakayiga era mmulaba nga munnabyabufuzi akyazimbibwa. Ekisooka naye talina njawulo na banne kuba naye ava mu kitundu eva Museveni. Abantu abasinga baagala nkyukakyuka ezaddala. Museveni bw'avaawo ate n'asikirwa Besigye, Muntu oba Henry Tumukunde awo kiki ekiba kikyuse? Bonna be bamu.

Yoweri Museveni?

Alina omukisa kubanga asobodde okufuga eggwanga emyaka 35, Aliko bingi by'akoze n'ensobi nnyingi. Museveni yandibadde akola nga Nyerere ow'e Tanzania n'ava ku ntebe n'afuna ekifo ekirala okugeza n'asigaza ekya ssentebe wa NRM. Ajja kusigala nga wamugaso.

Bwe wali omuwabuzi wa Pulezidenti wamuwabula ki?

Nnamuwabula obutakyusa Konsitityusoni kuggyawo kkomo ku myaka gya Pulezidenti. Kyokka olw'okuba ogwange gwa kuwabula teyakigula.

Yagikyusa ayongere okufuga.

Abawabuzi ba Museveni tebamulaba, ggwe omutuukako otya? Nze mmutuukako kuba siri wa bizibu. Abamu tebamulaba kubanga amanyi bamunoonya kubasasulira fiizi z'abaana. Nze buli lwe mmulaba mbeera ng'enze kumuwa magezi. Amagezi waddembe okugatwala oba obutagatwala kubanga nze ndi muwabuzi si nze nfuga eggwanga.

Okomawo mu 2021?

Abantu bansaba nzije ku kya Loodi Mmeeya nga bagamba nti nze muntu eyabakolera nga siwogganye. Ekirungi bannakampala 95 ku 100 bammanyi.

Kiki ekikuyambye okututumuka mu byobufuzi?

Okwekkiririzaamu kikulu nga teweekubagiza olw'ekyo kyoli. Bw'obeera n'ekiruubirirwa n'okiremerako otuuka wala. Ekirala kukwana abantu abansinga.

Eky'okuba nga nnazaalibwa mu nnyumba ya ssubi e Kisaasi ne sisoma kugenda wala tekya hhaana kufuuka mmeeya wa Kampala. Ntambudde ensi yonna ne nkola emikwano ku bakulembeze b'amawanga.

Neenyumiriza mu kuba nti nze nnagoba Museveni mu byobufuzi bya Kampala era okuva lwe nnawangula obwammeeya mu 1998, tebuddanga mu mikono gya Gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...