TOP

Sebaggala: Omusajja w'abakyala n'abaana

Added 28th September 2020

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama bya ffamire ye okugeza, omuwendo gw’abakyala be n’abaana ng’agamba nti “ffe Abasiraamu tetwawulayawula mu bakyala kubanga bonna amateeka gatulagira kubayisa kyenkanyi.

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Abaana nnina bangi kyokka wano mu Buganda omusajja tabalirwa baana." "Okuva mu ssomero nga tukwana abawala. Nze nga banjagala nnyo olw'okuba simaati.

Bwe nkuze ne bantuuma erinnya sooda w'abakyala. Nnina mikwano gyange bangi abakyala, kyokka era nnina n'emikwano mingi abasajja", bwe yategeeza gye buvuddeko.

ALAZE ABAANA B'ALINA

Sheima Balungi, agambibwa okuba mukyala wa Seya taliimu mu kiraamo.

Yafudde alaze omuwendo gw'abaana be 18 kyokka bw'ebaayo abatali mu kiraamo, ffamire ejja kubeetegereza. Kitaawe omugenzi Shaban Ssebaggala yazaala abaana 27.

Sebaggala bwe yeesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2001, yabuuzibwa ani gw'atwala nga mukazi we omutongole n'addamu nti alina abakazi basatu okuli Gera Mosha ne Naava Nabagasera.

Gera yafumbirwa Sebaggala mu 1979 n'afa mu July 2017.

Naava yali Sipiika wa KCC (kati KCCA) era Sebaggala yagenda naye mu Amerika gye baamukwatira mu1998 ne bamuggulako emisango gy'okucupula.

OMUKYALA OWOOKUSATU TEYAMWOGERA

Mu kiraamo kye yataddemu abaana 18, okuli abakyali abato abasoma pulayimale n'abali ebweru. Yalaze nti talina nnamwandu gw'alese mu maka wadde gw'alinako obuvunaanyizibwa oba gwe yagattibwa naye kubanga be yawoowa yabalaga oba baava mu nsi.

Ebyobugagga bye omuli amayumba, ettaka ne bizinensi ezenjawulo yabiteeka mu kkampuni nga buli mwana alinamu omugabo era tewali ateekwa kuba na bwannannyini bwankomeredde ku by'obugagga bwe.

Muganda we Farouk Ntege Ssebaggala yamulonze okuba omukuza w'abaana n'akuutira abaana okumuwulira.

Abamu ku baana ba Sebaggala n'aba baganda be lwe baali ku kabaga k'amazaalibwa ge ag'emyaka 70 ku Sheraton Hotel mu 2018.

Abaana kuliko; Noor Ssebaggala, Yusuf Ssebaggala Bakuuba, Abdul Nasser Gamel Ssebaggala , Sofia Nabaggala, Cobra Ssebaggala , Shaban Ssebaggala , Harima Nantege, Mohamed Ntege Lubwama, Mariam Ssebaggala , Shamim Nabaggala Rehemah Nakimuli, Badru Ssebaggala , Isaac Kimuli, Nasim Nanteza, Adam Ssebaggala ne Shamusa Ssebaggala asembayo.

Naava, mukyala we omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...