TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ensonga lwaki Sebaggala bamulwisizza ennaku 8 okumuziika

Ensonga lwaki Sebaggala bamulwisizza ennaku 8 okumuziika

Added 28th September 2020

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu era bakadde bange n’abantu baffe bonna bwe bafa tubaziikirawo. Nze nziikibwanga wayiseewo ennaku ssatu”, Seya bwe yalese alaamye.

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Kino yakinyweza ne mu mboozi eyakafubo ne Bukedde bwe yali tannatwalibwa mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gye yafiiridde ku Lwomukaaga. Amaze mu ddwaaliro ennaku 16. Abadde yalwala ekyenda.

Ng'ayogera ne Bukedde mu maka ge e Munyonyo yategeeza nti akimanyi Obusiraamu bulagira okuziikirawo kubanga Obusiraamu buyigiriza nti omuntu afudde aba takyagasa okumulwisa kuba kwonoona okugeza ku kusasaanya ssente mu lumbe.

"Nnayogera ne bamaseeka abakugu mu nsi yonna ne bantegeeza nti eky'okuziikirawo kyajja butayonoona bintu. Ku nze omusajja omugagga alina abaana e Bulaaya n'emikwano okwetooloola ensi yonna tewali nsonga lwaki babeera banziikirawo.

Tekijja kwetaagisa kusonda kuliisa bantu mu lumbe." bwe yategeeza Bukedde. N'agattako: nnaweerera abaana ate nange nkoze ssente. Olaba kati nnina ssente naye abaana bampeereza doola ne ndya. Nze simanyi nnaku ya bukadde."

Baganda b'omugenzi Nasser Ntege Sebaggala, Latif Ssebaggala (ku kkono) ne Farouk Ntege nga bali ku IHK.

Afiiridde ku myaka 72

Bwe yabadde yaakafa aba ffamire abaakulembeddwa omubaka Latif Ssebaggala Sengendo baasoose kuteesa kumuziika ggulo ku Ssande, kyokka oluvannyuma lw'okumanya ekiragiro Seya kye yalese ne bakyusa.

Mu kwagala obutapapa kumuziika, yalowooza nti abaana be 13 ababeera ebweru bajja kusobola okujja okubaawo okuziika. Ffamire ye yasazeewo okuziika kubeerewo ku Ssande ejja nga October 4, balabe oba kinaasoboka abaana okujja wakati mu buzibu bw'ennyonyi obutatambula olwa corona. Ekisaawe ky'e Ntebe kiggulwawo October 1, 2020.

Famire erowooza nti ssinga abaana banajja, basobola okukolerwa enteekateeka ne bakeberwa corona ne bagenda bakuba eriiso evvannyuma ku kitaabwe nga tebasoose mu kalantiini.

OKUFA KWE

Sebaggala yatwalibwa mu International Hospital Kampala(IHK) e Namuwongo, ennaku 16 eziyise. Ekyenda kyesiba ng'alaba ttivvi n'okuwuliriza leediyo mu maka ge e Munyonyo.

Abantu ab'enjawulo nga bakuhhaanidde ku ddwaaliro lya IHK oluvannyuma lw'okutegeera nti Sebaggala afudde.

Abasawo baamwanguyira ne bamukebera ne bazuula ng'ekyenda ekitono kyesibye ne kiremererwa okutambuza emmere ate ne kiyingira mu kyenda ekinene. Okumutaasa baalina okumulongoosa ate ne bamuddamu ogwookubiri okukitereeza.

Okumulongoosa ogwookubiri kwamukosa. Babadde bakyamujjanjaba ate n'afuna okukaluubirizibwa ku mutima. Gwesiba omusaayi ne gulemererwa okutambula .

Muganda we, Farouk Ntege yategeezezza nti ekyenda kyali kitereezeddwa bulungi, yafudde mutima. Yagambye nti abadde mulwadde wa puleesa ne ssukaali.

Omulambo gukuumirwa mu A-Plus gye gunaggyibwa ku Lwokutaano. Olumbe lukumiddwa Kisaasi ewa kitaawe Hajji Shaban Ssebaggala.

OBUSIRAAMU BUGAMBA KI KU KUZIIKA?

Sheikh Muhamood Kibaate amyuka Supreme Mufti, yagambye nti Sebaggala kiyinzika okuba nga yeebuuza ku by'obutamuziikirawo kyokka kisinziira ne ku bamaseeka be yeebuzaako kuba waliwo n'abeeyita bye batali.

Sebaggala obutamuziikirawo yagiyise nsobi gye yakoze ng'omuntu. Yasabye Abasiraamu obutatwala kyakulabirako kino kuba si kituufu.

Eddiini y'Obusiraamu eragira omuntu yenna afudde okumuziikirawo nga tebagoberedde bya bugagga by'abadde nabyo ku nsi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...