TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekiri mu lumbe lwa Sebaggala: Gavt. esasudde ssente z'eddwaaliro

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggala: Gavt. esasudde ssente z'eddwaaliro

Added 28th September 2020

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala ( Seya) mu nnaku 16 z'amaze ku kitanda. Ssente okuwera obukadde 60, kyavudde ku kumulongoosa emirundi ebiri ate ng'obulwadde bwe obw'ekyenda buzibu obwetaagisa abakugu. Muganda we Farouk Ntege yagambye nti eby'eddwaaliro byonna Gavumenti yabisasudde. "Oli abadde seya wa Gavumenti.

Agikoledde ebintu bingi. Abadde akyogera lunye nti amanyi Museveni ng'omuntu ate abadde mukwano gw'abakungu bangi mu Gavumenti.

Museveni yamuwa obwaminisita kyokka Palamenti n'etemukakasa. Ekya minisita bwe kitaayitamu, Museveni n'amulonda okuba omuwabuzi we. Noolwekyo asaanidde okufiibwako Gavumenti," bwe yagambye.

Enteekateeka y'okuziika Enteekateeka z'okuziika zikuliddwa Hajji Hassan Basajjabalaba. Baamukwano ne Seya era Sebaggala we yabeerera Meeya wa Kampala yayamba nnyo Basajjabalaba okufuna ebintu mu kibuga.

Seya yawagira Basajjabalaba okuzimba akatale k'e Nakasero olwo abasuubuzi bafune obwannannyini bwa bitundu 30 ku 100 kyokka abasuubuzi ne bagaana.

Olumbe lukumiddwa Kisaasi ewa kitaawe. Buli lunaku wajja kubaawo edduwa okutuusa lw'aliziikibwa. Ku Lwokutaano, omulambo gujja kuggyibwa mu kkampuni ya A-Plus gutwalibwe mu maka ge e Munyonyo gye gunaasula.

Ku Lwomukaaga, omulambo gujja kutwalibwa e Kisaasi mu maka ga kitaawe Shaban Ssebaggala gy'anaaziikibwa enkeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...