TOP

Seya alese omukululo mu byobufuzi bwa Uganda

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Amaka ga Seya Sebaggala

Amaka ga Seya Sebaggala

Yakozesa eky'okumuyeeya obutasoma ng'ekyokulwanyisa ne gafuuka amaanyi ge era n'agakozesa okukunga abantu naddala abataasoma okumuwagira.

Yafuuka muganzi mu Kampala ne mu bibuga ebirala era likodi gye yassaawo nga nnamungi w'omuntu amwaniriza ng'akomawo okuva mu Amerika, ekyalemeddewo.

Abaayingira Palamenti mu 2001 n'abaawangula ebifo eby'enjawulo nga batambulira ku kintu kimu "Haji alagidde….." atuuse kufa nga bakyamussaamu ekitiibwa olw'engeri gye yakyusa ekibalo, n'ateeka ku mwanjo abantu baabulijjo ne batandika okussibwamu ekitiibwa naddala mu biseera by'akalulu.

ENGERI GYE YAGAGGAWALIRA MU BUSUUBUZI

Mu myaka gye egyasooka, Haji Nasser Ntege Sebaggala 72, yali musuubuzi ow'amaanyi. Eyali omutunzi w'obunzaali, ng'atambuza bigere ne kitaawe okuva e Kisaasi okugenda e Nakasero buli lunaku; yeeyubula mu nnaku bunaku n'afuuka omusuubuzi ow'amaanyi ennyo nga Pulezidenti Iddi Amin agobye Abayindi mu 1972 era nga y'omu ku baafuna agamu ku maduuka agaaweebwa Bannayuganda.

Okugoba Abayindi kwamusanga yaakeetandikirawo bizinensi eyiye oluvannyuma lw'okulekulira omulimu gw'obwa kitunzi mu kkampuni ya Diary Corporation era omukisa ne gumutomerera awo e Nakasero.

Bwe yayitimuka ennyo nga n'emmotoka avuga ezo ezitemya ng'omuntu batandise n'okumuyita "Young Millionaire" ate Amin n'atandika okumuyigga. Awo we yafulumira eggwanga era we yatandikira okuzimba emirandira mu Bungereza ne Amerika.

Mu katabo Seya ke yafudde awandiika annyonnyola engeri gye yakwata ssente n'azisiba mu kiveera n'azitwala n'azikweka ewa kitaawe Shaban Ssebaggala (omugenzi), olwo n'alyoka afuluma eggwanga nti era bwe yakomawo nga Amin bamaze okumuwamba, ssente ezo ze zaamuyamba okutandika bizinensi ez'amaanyi mu Kampala.

Ye Munnayuganda eyasooka okussaawo edduuka eriri mu ttuluba lya "Supermarket" lye yatuuma UGANTICO ku Nkrumah Road. Oluvannyuma yatandika Kisaasi Forex Bureau eyavungisanga ssente.

Dr. Kizza Besigye agamba nti yasooka okumanya Seya nga musuubuzi wa maanyi mu Kampala era ng'alina n'edduuka ery'amaanyi eryayitibwanga FABRICANO nga litunda bya kwambala. Buli mwambazi w'ebiseera ebyo nga bw'atagenda wa Kadingidi, ng'agenda mu Fabricano ku Kampala Road.

Besigye yaddamu okusisinkana Seya ng'amaze okulangirira nga bw'agenda okuvuganya mu kalulu ka 2001 ate nga Seya bamugaanye okwesimbawo olw'ebiwandiiko by'obuyigirize ekyavaako n'akeegugungo ng'abavubuka abaali bamuwagira bagezaako okulumba ekitebe kya UNEB e Ntinda.

EBYOBUFUZI ABADDE ABIZANNYA NGA MUPIIRA

Seya yannyonnyola nti okuva mu myaka gy'ensanvu nga muwagizi wa DP era yafuna ekinyegenyege ky'okwesimbawo ng'eyali akulira DP, Kawanga Ssemogerere alangiridde bw'agenda okuvuganya ku Bwapulezidenti mu kalulu ka 1996.

Wadde ebibiina by'ebyobufuzi byali tebinnakirizibwa kukola, wabula mu ba DP abaali bagenda okwesimbawo ne Seya mwe yajjira era ng'ayagala kifo kya Meeya wa Kampala.

Yamegga Christopher Yiga ne Wasswa Biriggwa era nga kye baali baleese ng'ekyokulwanyisa nti teyasoma, ate kye yakozesa okutandika okukunga abataasoma bonna bamuyiire obululu era n'awangula.

Bannakampala baamukazaako Seya kubanga yayogeranga nnyo nti, , "Nze ndi Seya wammwe.." ekitegeeza nti, "Nze ndi munnamwe nnyo era kye mba nnina tugabanira wamu." Kyokka Paul Kakande omu ku baakulira kampeyini ezaatuusa Sebaggala ku bwa meeya agamba nti ekigambo ' Seya' yakiggya mu kigambo ky'Olungereza 'Share' (okugabana) nga mu mbeera eno yali ategeeza nga Bannakampala bwe baali balina okugabana mu bintu ebisinga.

Abantu baamwagala nnyo era ne bwe yasibwa mu Amerika mu 1998 nga tannaba na kubandaala mu ntebe ya Meeya, obuwagizi bweyongera bweyongezi ne bakiragira ne mu kumwaniriza nga bamuyimbudde oluvannyuma lw'okumalako ekibonerezo mu December 1999.

Bwe yawagira Besigye mu 2001, yaddayo 'okusoma' okwongera ku bitabo bya J2 mwe yali akomye era bwe yakomawo n'agezaako okuvuganya okukulembera DP mu 2005 wabula n'awangulwa John Ssebaana Kizito eyali amaliriza ekisanja ky'Obwameeya wa Kampala.

Mu kalulu ka DP akaali e Namboole, Seya yatuuka n'okuggyayo akavangata ka ssente n'aziwanika mu bbanga n'akakasa abalonzi nti bwe bamulonda, obwavu nga babwerabira.

Kino abamu baakitunuulira ng'okugulirira abalonzi okw'olwatu era ne kivumirirwa nnyo. Yasooka kwewandiisa kuvuganya ku Bwapulezidenti mu kalulu ka 2006 kyokka oluvannyuma n'ava mu lwokaano n'alekamu Ssebaana owa DP olwo n'adda ku kya Meeya era ne bamulonda n'awanguliramu ne Haji Takuba aba DP gwe baali basimbyewo.

Mu 2010 yaddamu okuvuganya ku kkaadi ya DP naye bwe yawangulwa Nobert Mao kwe kutandikawo ekibiina ekikye ekya Liberal Democratic Party wabula tekyawangaala era n'akiyingiza mu mukago ne NRM okukkakkana nga bamulonze n'okubeera minisita atalina mulimu gwa nkalakkalira wabula Palamenti n'etamusunsula era Pulezidenti kwe kumuwa eky'obuwabuzi bwe ku nsonga za bayinvesita.

We yafiiridde, nga yeesozze NUP ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) era ng'ayagala kuddamu kukulembera kibuga mulundi gwa kusatu ku tiketi ya NUP.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...