TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa North Korea yejjusizza ku by'okutta omusajja wa South Korea

Owa North Korea yejjusizza ku by'okutta omusajja wa South Korea

Added 28th September 2020

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze. Batadde akazito ku Pulezidenti Kim Jong Un ne bayiwa abaserikale ku nsalo nga bateevuunya.





Kim agenze okulaba ng'embeera yeeyongera okusajjuka n'avaayo mu kyama n'aweereza munne owa South Korea, Moon Jae-in obubaka akkakkanye embeera baleme kwolekera mbeera ya kuyiwa musaayi.

Ekikolwa kino aba South Korea bakitapuse ne babifulumya eri abantu nga bategeeza nti Kim yeetonze olw'abajaasi be okutta omuntu atalina musango n'omulambo ne bagukumako omuliro nga bagamba nti baabadde batangira Corona.

Obubaka Kim bwe yaweerezza yagambye nti kino kyabadde kikolwa kya bulagajjavu ekyatuuseewo mu ngeri eyabadde tesuubirwa so nga kyabadde kisobola okwewalika okusinziira ku butendeke abaserikale be bwe balina.

Ku Lwokubiri abaserikale ba North Korea baasanze omusajja omuvubi munnansi wa South Korea ng'asaze ensalo mu mazzi ayingidde mu North ne bamusindirira amasasi agaamuttiddewo n'omulambo gwe ne bagukumako omuliro mu ngeri ey'obukambwe ennyo. Bino we bijjidde ng'amawanga gombi gali mu kaweefube okutereeza enkolagana yaabwe kyokka buli lwe babeera ng'abatereera nga wajjawo ekikolwa ekisajjula embeera.

South Korea ng'eri emabega wa munywanyi waayo Amerika, baategeka enteeseganya wakati wa Pulezidenti Kim n'e Amerika okukomya okuweesa eby'okulwanyisa nnamuzisa. Enteeseganya zino zagwa butaka n'omulundi ogwasembayo ne baabuka nga tebakkaanyizza.

Bino bwe byaggwa waaliwo enteekateeka okulaba nga North ne South bongera okwetereeza mu nkolagana yaabwe wabula mu March w'omwaka guno abajaasi b'amawanga gombi baawanyisiganya amasasi ku bitundu by'oku nsalo ne kiteekawo obunkenke okumala ekiseera. July w'omwaka guno, pulezidenti Kim Jong Un yazzeemu okutabuka ne South lwa kufulumya bifaananyi ebityoboola mukyala we, Ri Sol Ju.

Yalabudde nti kino bwe kitakomezebwa bunnambiro, waakulagira amagye galumbe babakube awabi abamalemu ejjoogo, okutyoboola n'okusambirira amakaage.

Obubaka Kim bwe yaweerezza yakkirizza nti, abajaasi be baakubye omusajja amasasi 10 agaamusse wabula n'akiggumiza nti omusajja ono yabadde asaze ensalo ng'ayingidde mu North mu ngeri emenya amateeka era abakuuma ensalo baamukubye nga basinziira ku biragiro bye balina.

Wabula minisitule y'ebyokwerinda mu South Korea yategeezezza nti omusajja ono baasoose kumutulugunya oluvannyuma ne bamukuba amasasi agaamusesebbudde omubiri ate ne baguteekera omuliro.

Emikutu gy'amawulire mu South Korea gyategeezezza nti omusajja ono abadde n'ebizibu ng'abadde yaakamala okutabuka ne mukyala we bw'atyo n'asalawo okwewungula agendeko mu mazzi anoonyeze abaana be ekyokulya.

Ettemu lino eryasajjudde embeera ne lituuka n'okuwaliriza Kim okwetonda so ng'amanyiddwa ng'omusajja atatya biduduma, lyabaddewo omulundi ogwasoose mu myaka 10, amagye ga North okukkakkana mu munnansi wa South ne bamutta.

Owa South Korea ayanukudde

Pulezidenti Moon Jae-in yagambye nti eggwanga lye terigenda kugumiikiriza jjoogo erifaana bwe liti n'asaba mukulu munne okutwala obuvunaanyizibwa ku kyakoleddwa mu ngeri ematiza nti ddala bye yawandiise bye yabadde ategeeza.

Olukiiko lw'ebyokwerinda (National Security Council) mu South lwafulumizza ekiwandiiko nga lugamba nti si lumativu era Kim talina nsonga ematiza gye yabadde asobola kubawa lwaki baakubye omuntu amasasi.

Abamu baabadde bagamba nti ensonga eno teyinza kumalirizibwa bwetyo.

AMAGYE ga North Korea okutta
munnansi wa South Korea gwe
baasanze abuuse ensalo ng'ali
mu mazzi gaabwe biranze.
Batadde akazito ku Pulezidenti
Kim Jong Un ne bayiwa abaserikale
ku nsalo nga bateevuunya.
Kim agenze okulaba
ng'embeera yeeyongera okusajjuka
n'avaayo mu kyama
n'aweereza munne owa South
Korea, Moon Jae-in obubaka
akkakkanye embeera baleme
kwolekera mbeera ya kuyiwa
musaayi.
Ekikolwa kino aba South
Korea bakitapuse ne babifulumya
eri abantu nga bategeeza
nti Kim yeetonze olw'abajaasi
be okutta omuntu atalina musango
n'omulambo ne bagukumako
omuliro nga bagamba nti
baabadde batangira Corona.
Obubaka Kim bwe yaweerezza
yagambye nti kino kyabadde
kikolwa kya bulagajjavu ekyatuuseewo
mu ngeri eyabadde
tesuubirwa so nga kyabadde
kisobola okwewalika okusinziira
ku butendeke abaserikale be bwe
balina.
Ku Lwokubiri abaserikale ba
North Korea baasanze omusajja
omuvubi munnansi wa South
Korea ng'asaze ensalo mu
mazzi ayingidde mu North ne
bamusindirira amasasi agaamuttiddewo
n'omulambo gwe ne
bagukumako omuliro mu ngeri
ey'obukambwe ennyo.
Bino we bijjidde ng'amawanga
gombi gali mu kaweefube okutereeza
enkolagana yaabwe kyokka
buli lwe babeera ng'abatereera
nga wajjawo ekikolwa ekisajjula
embeera.
South Korea ng'eri emabega
wa munywanyi waayo Amerika,
baategeka enteeseganya
wakati wa Pulezidenti Kim n'e
Amerika okukomya okuweesa
eby'okulwanyisa nnamuzisa.
Enteeseganya zino zagwa butaka
n'omulundi ogwasembayo ne
baabuka nga tebakkaanyizza.
Bino bwe byaggwa waaliwo enteekateeka
okulaba nga North ne
South bongera okwetereeza mu
nkolagana yaabwe wabula mu
March w'omwaka guno abajaasi
b'amawanga gombi baawanyisiganya
amasasi ku bitundu by'oku
nsalo ne kiteekawo obunkenke
okumala ekiseera.
July w'omwaka guno, pulezidenti
Kim Jong Un yazzeemu
okutabuka ne South lwa kufulumya
bifaananyi ebityoboola
mukyala we, Ri Sol Ju. Yalabudde
nti kino bwe kitakomezebwa
bunnambiro, waakulagira amagye
galumbe babakube awabi
abamalemu ejjoogo, okutyoboola
n'okusambirira amakaage.
Obubaka Kim bwe yaweerezza
yakkirizza nti, abajaasi be
baakubye omusajja amasasi 10
agaamusse wabula n'akiggumiza
nti omusajja ono yabadde asaze
ensalo ng'ayingidde mu North
mu ngeri emenya amateeka era
abakuuma ensalo baamukubye
nga basinziira ku biragiro bye
balina.
Wabula minisitule
y'ebyokwerinda mu South Korea
yategeezezza
nti omusajja
ono baasoose
kumutulugunya
oluvannyuma
ne
bamukuba
amasasi
agaamusesebbudde
omubiri ate
ne baguteekera
omuliro.
Emikutu
gy'amawulire
mu South Korea
gyategeezezza
nti omusajja ono
abadde n'ebizibu
ng'abadde yaakamala
okutabuka
ne mukyala we
bw'atyo n'asalawo
okwewungula
agendeko mu mazzi
anoonyeze abaana
be ekyokulya.
Ettemu lino
eryasajjudde
embeera ne lituuka
n'okuwaliriza Kim
okwetonda so
ng'amanyiddwa
ng'omusajja atatya
biduduma, lyabaddewo
omulundi
ogwasoose mu
myaka 10, amagye
ga North okukkakkana
mu munnansi
wa South ne
bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...