TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kibalama ayogedde lwaki yakyusizza bye yabadde asoose okwogera

Kibalama ayogedde lwaki yakyusizza bye yabadde asoose okwogera

Added 28th September 2020

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti yejjusa embeera gy’alimu era tamanyi bigenda mu maaso gye binaggweera.

Kibalama

Kibalama





Bino yabyogedde mu lukuηηaana lwa bannamawulire lwe yayise ku Musa Courts, mu Kampala oluvannyuma lw'okulabikako mu kkooti ku Twed Tower.

Yagambye nti, waliwo abantu bana abaamulumba mu maka ge nga balina emmundu ne ttooci era nga bano oluvannyuma lw'okumwekanga babuuka ekikomera ne badduka era wano weyasinziira okuloopa ku Poliisi e Buwambo ng'atidde nti obulamu bwe buli mu matigga.

Kibalama, ategeezezza nti oluvannyuma lw'ebyo byonna okubaawo, kwekufuna obukuumi okuva mu beebyokwerinda baatamanya kitongole kituufu mwe baali bava.

Wabula bwe yabadde alabiseeko mu kkooti enkulu ku kizimbe kya Twed Tower, ku Lwokutaano, Kibalama yategeeza nti waliwo abantu abaamukubira essimu b'alumiriza nti baali bava mu bitongole ebikuuma ddembe era nga bano be baamuyunga ku muduumizi w'amagye ga UPDF , Genero David Muhoozi.

Yagambye nti okumukubira essimu, yali ku makubo ge ng'agenda mu kyalo mu disitulikiti y'e Kayunga. "Abankubira bangamba nti baali balondoola emmotoka mwe nnali era ne bang'amba nti omukulu yali ayagala kunsisinkana obutasukka ssaawa kkumi bwentyo ne nzikiriza."

Yagambye nti ekyamuviiriddeko okukyusa ebigambo bye bye yabadde mu kkooti, kyavudde ku kuba nti ebiwandiiko ebyakolebwa yali tasoose kubisomamu era nga looya we Anthony Wameri, ensonga eno yagimutegeezaako.

Kibalama, agamba nti, gy'abadde akuumirwa yaggiddwayo era nga kati yazzeemu okusula mu maka ge, wabula nga waliyo amagye agateekedwayo okumukuuma.

Yagambye nti yejjusa okuwaayo ekibiina kye eri aba People Power, kubanga engeri gye bakitambuzaamu si yeeyo gye baali basuubira.

EYALI Pulezidenti w'ekibiina kya
National Unity and Reconciliation
Party (NURP) Moses Nkonge
Kibalama, agamba nti yejjusa
embeera gy'alimu era tamanyi bigenda
mu maaso gye binaggweera.
Bino yabyogedde mu lukuηηaana
lwa bannamawulire lwe yayise
ku Musa Courts, mu Kampala
oluvannyuma lw'okulabikako mu
kkooti ku Twed Tower.
Yagambye nti, waliwo abantu
bana abaamulumba mu maka
ge nga balina emmundu ne
ttooci era nga bano oluvannyuma
lw'okumwekanga babuuka
ekikomera ne badduka era wano
weyasinziira okuloopa ku Poliisi e
Buwambo ng'atidde nti obulamu
bwe buli mu matigga.
Kibalama, ategeezezza nti
oluvannyuma lw'ebyo byonna
okubaawo, kwekufuna obukuumi
okuva mu beebyokwerinda baatamanya
kitongole kituufu mwe baali
bava.
Wabula bwe yabadde alabiseeko
mu kkooti enkulu ku kizimbe kya
Twed Tower, ku Lwokutaano, Kibalama
yategeeza nti waliwo abantu
abaamukubira essimu b'alumiriza
nti baali bava mu bitongole
ebikuuma ddembe era nga bano
be baamuyunga ku muduumizi
w'amagye ga UPDF , Genero David
Muhoozi. Yagambye nti okumukubira
essimu, yali ku makubo ge
ng'agenda mu kyalo mu disitulikiti
y'e Kayunga. "Abankubira bangamba
nti baali balondoola emmotoka
mwe nnali era ne bang'amba nti
omukulu yali ayagala kunsisinkana
obutasukka ssaawa kkumi bwentyo
ne nzikiriza."
Yagambye nti ekyamuviiriddeko
okukyusa ebigambo bye bye
yabadde mu kkooti, kyavudde ku
kuba nti ebiwandiiko ebyakolebwa
yali tasoose kubisomamu era nga
looya we Anthony Wameri, ensonga
eno yagimutegeezaako.
Kibalama, agamba nti, gy'abadde
akuumirwa yaggiddwayo era nga
kati yazzeemu okusula mu maka
ge, wabula nga waliyo amagye
agateekedwayo okumukuuma.
Yagambye nti yejjusa okuwaayo
ekibiina kye eri aba People Power,
kubanga engeri gye bakitambuzaamu
si yeeyo gye baali basuubira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...