TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DPP yeddizza omusango gwa Kyagulanyi ogw'okukyusa emyaka

DPP yeddizza omusango gwa Kyagulanyi ogw'okukyusa emyaka

Added 29th September 2020

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu nga kati gugenda kutambuzibwa omuwaabi wa gavumenti omukulu (DPP).

Robert Kyagulanyi Ssentamu

Robert Kyagulanyi Ssentamu

Omulamuzi Stella Amabiris owa kkooti ya Buganda Road agambye nti DPP waddembe okweddiza omusango gwonna nga guli ku mutendera gwonna nga tasoose kwebuuza ku muntu yadde okusaba kkooti olukusa.

Omulamuzi Amabiris olumaze okuggya Mabiriizi omusango mu ngalo amulagidde okuwa gavumenti obujulizi bwonna bwabadde yakakung'aanya gavumenti ebukozese nga wano Mabiriizi ategeezezza nti ka kibe ki tajja kububawa.

Mabiriizi ayongeddeko nti waakugenda mu kkooti Enkulu okuwakanya eky'okumuggyako omusango gwe.

Mabiriizi yawawaabira omubaka Kyagulanyi ng'ayagala kkooti emugaane obutaddamu kuvuganya ku kifo kyonna ekyobufuzi okumala emyaka 7 ng'amulumiriza okulimba emyaka.

Mu bujulizi bwe Mabiriizi agamba nti Bobi Wine yalimba abakungu abagaba paasipooti ne mu Palamenti nti  yazaalibwa 1982 era wa myaka 38 ng'ate amazima yazaalibwa 1980 era kati ateekwa kuba na myaka 40.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....