TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 45 be baafiiridde mu bumenyi bw'amateeka wiiki ewedde - Poliisi

Abantu 45 be baafiiridde mu bumenyi bw'amateeka wiiki ewedde - Poliisi

Added 29th September 2020

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko





Mu kiseera ky'ekimu poliisi eyigga omuserikale wayo Julius Kiwanuka  n'abakozi ba yunivasite y'e Makerere abalongoosa (cleaners)  babiri babuuzibwe ku by'omuliro ogwakutte yunivasite eno. Bonsatule tebalabikako bukyanga muliro gukwata bizimbe bino.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga bino yabitegeezezza mu lukung'ana lwa bannamawulire mu Kampala ng'ayogera ku bibaddewo mu wiiki ewedde.

N'agamba nti obutemu bwakutte kya kumwanjo mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu era abantu 45 bafudde n'abalala 33 bali mu makomera olw'emisango egyamaanyi  egiwera 52 egyabaddewo wiiki ewedde.

Enanga yagambye nti waliwo akatambi k'omuntu agamba nti yafuna ebisago ebyamaanyi olw'ebyofuzi bw'okulonda kw'akamyufu ka NRM akagenda katambulira ku mikutu gy'empuliziganya (social media) k'ebuulirizaako okuzuula obutuufu bwako.

N'agamba nti okulonda okwakasembayo e Sembabule tekwabaddemu kuyisa musaayi kyokka kisuubirwa nti okuyiwa omusaayi okwogerwako kwandiba nga kwavudde ku kulwanagana okwabadde mu bitundu ebyo olw'enkayana z'ettaka.

Enanga yagambye nti waliwo omuggagga Albert Muganga eyaloopedde poliisi nti  ekibinja ky'abantu 20 kyalumbye ffaamu ye  Ntuusi ne kirumya abakozi babiri okuli Tayebwa Benon ne Nasasira wamu  n'okutwala ente ze.

Wabaddewo okulwanagana ku njuyi zombie era poliisi esuubira nti muno muyinza okuba nga mwe mwavudde akatambi k'omuntu eyabadde agamba nti yatuusibwako ebisago ebyo akagenda katambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...