TOP

FUFA eweze ttiimu okutendekebwa

Added 29th September 2020

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga FUFA emalirizza enteeseganya ne Gavumenti ku by’okukebeza abazannyi corona.

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA






Kino kiddiridde FUFA okulaba obutambi bwa Police FC ng'etendekebwa wamu ne ttiimu endala okutandika okuzannya emipiira egy'omukwano.

Pulezidenti Museveni yasumuludde emizannyo egitali mu bisaawe bibikke wabula n'agissaako obukwakkulizo omuli okusooka okukebeza abazannyi n'abakungu ba ttiimu corona buli lwe baba bagenda okuzannya. "Waliwo ttiimu ezitandise okutendekebwa n'okuzannya emipiira egy'omukwano.

Kino kikome bunnambiro okutuusa nga tumaze okuteeseganya ne Gavumenti ku nsonga ya corona," Ekiwandiiko kya FUFA ekiriko omukono gw'omukungu waayo, Decolas Kiiza bwe kyasomye.

"Omupiira tegulina kuzannyibwa mu ggwanga lyonna okutuusa nga tumalirizza enteeseganya ne Gavumenti," ekiwandiiko kya FUFA bwe kyategeezezza ne kirabula nti, "Anaagezaako okulinnya mu kisaawe n'akwatibwa, waakukolwako ng'amateeka bwe galagira."

Akulira emirimu mu Police FC, Fahad Lumu yeegaanyi eby'okutendekebwa n'agamba nti ebigambo bya Pulezidenti Museveni baabiwulira bulungi nnyo nga tebayinza kubijeemera.

Ye omutendesi wa Police, Abdallah Mubiru yagambye nti basobeddwa ku ky'okukolera abazannyi kuba liigi esembedde ate abazannyi bamaze emyezi musanvu nga tebatendekbwa.

Mu mbeera y'emu Mbarara City, nayo Pulezidenti Museveni olwasumuludde emizannyo n'ekolerawo entegeka y'okuzannya egyomukwano. Yakubye Kiboga Young (3-1) ate Kataka FC (2-0) e Mbale. Zino zombi zeeetegekera 'play offs' za Big League.

Omwogezi wa Mbarara City, Arnold Akankwasa Mushebe naye yagambye nti bakyasobeddwa ku kiddako kuba babadde bamanyi bakkirizibwa okuzannya egy'omukwano naye nagyo bagiyimirizza kuba tebasobola kujeemera FUFA.

FUFA eweze ttiimu
zonna okutendekebwa
n'okuzannya omupiira
kagube gwa mukwano.
Ekiragiro kino kikola
okutuusa nga FUFA emalirizza
enteeseganya ne Gavumenti
ku by'okukebeza
abazannyi corona.
Kino kiddiridde FUFA
okulaba obutambi bwa
Police FC ng'etendekebwa
wamu ne ttiimu endala
okutandika okuzannya
emipiira egy'omukwano.
Pulezidenti Museveni
yasumuludde emizannyo
egitali mu bisaawe bibikke
wabula n'agissaako obukwakkulizo
omuli okusooka
okukebeza abazannyi
n'abakungu ba ttiimu corona
buli lwe baba bagenda
okuzannya.
"Waliwo ttiimu ezitandise
okutendekebwa
n'okuzannya emipiira
egy'omukwano. Kino
kikome bunnambiro okutuusa
nga tumaze okuteeseganya
ne Gavumenti ku
nsonga ya corona," Ekiwandiiko
kya FUFA ekiriko
omukono gw'omukungu
waayo, Decolas Kiiza bwe
kyasomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...