TOP
  • Home
  • Amawulire
  • NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC NTI BWEMUBA MUGAMBA NTI MBADDE MBEGA KIKI EKYATWALA WINNIE KIIZA NE MAAMA MABIRA ?

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC NTI BWEMUBA MUGAMBA NTI MBADDE MBEGA KIKI EKYATWALA WINNIE KIIZA NE MAAMA MABIRA ?

Added 30th September 2020

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma lw’okuwangula Kudrah Ssali gwe yabadde yeesimbyewo naye mu kamyufu.

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k'ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma lw'okuwangula Kudrah Ssali gwe yabadde yeesimbyewo naye mu kamyufu.
Olwamukwasizza kaadi, Nabillah abadde ayogeza amaanyi yeebazizza Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine, olw'okukkiriza Abakazi okuvuganya ku bifo eby'enkizo ekitali mu FDC gy'abadde.


Agambye nti agenda kuwangulira NUP obwa Loodi Meeya alage FDC nti abakazi tebadiba, bw'Omusuula nga tomulabyemu mugaso, wabaawo abeera amwagala.
"Njagala okugumya abakazi yonna gye muli nti omusajja bw'akusuula tolina kuggwamu maanyi kubabga saawa yonna omukisa gusobola okukujjira n'ogufuna," Nabillah bwe yagambye.


Ono era alumbye FDC n'agamba nti bawalana abakazi era buli agezaako okuvaayo gwe bawalana. "Nze bwe baba bagamba nti mbadde mbaliira munda, batubuulire ekyatwala Omubaka Winnie Kiiza, Maama Mabira Beatrice Anywar, n'abalala?" Nabillah bwe yategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...