TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'amasomero g'obwannannyini balaze engeri gye beetegeseemu okuddamu okusomesa mu mbeera ya COVID

Ab'amasomero g'obwannannyini balaze engeri gye beetegeseemu okuddamu okusomesa mu mbeera ya COVID

Added 30th September 2020

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

Bya Margret Zalwango

ABAKULIRA amasomero g'obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu  okusomesa abaana.

Bano nga bakulemberwa ssentebe waabwe Joseph Kiggundu babangudde bannaabwe okuva mu masomero ag'enjawulo ku ngeri gye basobola okuteekateeka amasomero gaabwe nga bagoberera ebiragiro ebyatekebwako gavumenti bweyali ekkiriza amasomero okuddamu okukola.

Kiggundu yagambye nti nga bannayini masomero gano mukisa munene gavumenti okubakkiriza okuddamu okukola ne basaba bannaabwe abatanetegeka banguye baddemu okusomesa abaana b'eggwanga ku lunaku pulezidenti lweyabawa.

Abasomesa abeetabye mu musomo guno bategezezza nti bamaze okussaawo ebifo awanaabirwa engalo, sanitayiza, okwawula mu buliri bw'abaana, obusenge awasobola okukuumirwa basuubirwamu obulwadde, n'ebirala.

Pulezidenti Museveni ne ministule yebyenjigiriza bakkirizza abaana abali mu bibiina ebyakamiririzo okuddamu okusoma nga October 15, era Kiggundu yagambye nti luno balwetegekedde nga ne Covid ayongedde okubawa omukisa okukola ebintu ebimu era bakubitwala nga kitundu ku bulamu obwa bulijjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...