TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muwala wa Kuteesa agaanyi okukkiriza ebyavudde mu kalulu: Yawanguddwa Sodo muto wa Museveni

Muwala wa Kuteesa agaanyi okukkiriza ebyavudde mu kalulu: Yawanguddwa Sodo muto wa Museveni

Added 1st October 2020

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza ebivudde mu kulonda ng'agamba nti kwabaddemu emivuyo mingi nga n'ebyaalo mukaaga tebyaalonze ng'akwasizza akulira ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi ekiwandiiko.

Sodo ne Shartsi

Sodo ne Shartsi

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza ebivudde mu kulonda ng'agamba nti kwabaddemu emivuyo mingi nga n'ebyaalo mukaaga tebyaalonze ng'akwasizza akulira ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi ekiwandiiko.

Mu kubala obululu okubadde ku kitebe kya Disitulikiti eSembabule ,Akulira ebyokulonda George William Katokozi alangiridde Muto wa Pulezidenti Godfrey Aine Kaguta Sodo ng'awangudde muwala wa Minisita Shartsi Musherure Kuteesa nobululu 17,343 ku bululu 16,104 nga ye Salim Kisekka afunye obululu 4274.

Tanga Odoi ng'akwasa Sodo empapula z'obuwanguzi

Ye Sodo ategeezezza nti obuwanguzi bwe bwa bantu abamuwagidde ennyo n'agamba nti agenda kukola ekisoboka okukola ku biruma Bannamawogola naddala okutuusa amazzi amayonjo mu byalo.

Ku ky'omubaka akiikirira Mawogola West,Anifa Kawooya alangiriddwa ng'awangudde Joseph Sekabiito nobululu 15,923 nga ye Sekabiito afunye obululu 13143 ng'ono akwasiddwa ekiwandiiko.

Hanifa Kawooya nga bamukwasa empapula z'obuwanguzi

Mary Begumisa awangudde bendera ku ky'omubaka omukyala owa Disitulikiti eno ng'afunye obululu 73,940, Twongeirwe Jovanice akutte kyakubiri nobululu 16,448 nga ye Phoebe Arinitwe afunye obululu 11,011.

Bya Maria Nakyeyune

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aloysious Mukasa ( ku ddyo) ng’ayambaza owa bodaboda ekikoofiira kye yamuwa.

Abavuganya abayiye ssente m...

Mukasa avuganyiza ku kaadi ya NUP mu Lubaga South bw'omuzza mu kyama agamba nti bw'abalamu ssente ze yakasaamu...

Ekimu ku bizimbe by’omugagga. Mu katono ye Baseka ne Kisige

Eyanoba emyaka 30 akomyewo ...

MARY Norah Baseka baamukuba embaga mu 1981. Yatabuka ne bba n’anoba kati emyaka 30 egiyise. Wabula bwe yawulidde...

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...