TOP
  • Home
  • Amawulire
  • MAO alangiridde okwesimbawo ku bwa Pulezidenti, asekeredde abaagenze mu NUP

MAO alangiridde okwesimbawo ku bwa Pulezidenti, asekeredde abaagenze mu NUP

Added 1st October 2020

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao asekeredde abanene ba DP abaayabulidde ekibiina kino ne beegatta ku ky’omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ekya NUP.

Mao

Mao

Mao eyalangiridde nti agenda kuvuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda yagambye nti abayabulidde DP ne beegatta ku NUP abasasasidde kuba beerabidde ‘'eyabalera'' kyokka n'agamba nti talina kinene kyakubakolera.

Era tekijja kumulobera kwesimbawo ku bwa Pulezidenti nga bw'ategeka: "Nnina okwesimbawo era nteekwa okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda'' Mao bwe yagambye n'asambajja ababadde bagamba nti agenda kuddayo yesimbe e Gulu ku bubaka bwa palamenti.

" Egy'obubaka bwa Palamenti nabimala dda'' bwe yagambye ng'ali ku pulogulaamu ya leediyo ya FM emu (Simba) ku Lwokusatu akawungeezi.

Abamu ku babaka ba DP abaalangirira nti baagenda mu NUP kuliko; Muwanga Kivumbi (Butambala)  Medard Ssegona (Busiro East),  Betty Nambooze (Mukono municipality) , Ssempala Kigozi (Makindye Ssabagabo)  n'abalala.

Nga beegatibwa eyali avunaanyizibwa ku by'amawulire mu DP Keneth Paul Kakande , ssentebe wa Wakido Matia Lwanga Bwanika n'abalala.

Wabula abamu ku basala eddiiro tebanafuna tikiti ya NUP ebakiriza kukwatira kibiina kino bendera ekireseewo akatuubagiro. Abamu ku banene abagenda mu NUP kigambibwa nti ate baagala kukuba nkyukira badde mu DP babawe tikiti y'okwesimbawo oluvannyuma lw'ebintu okukaluba.         

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...