TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba LDU bamukubye ne bamuleka ku mugo gwa ntaana

Aba LDU bamukubye ne bamuleka ku mugo gwa ntaana

Added 2nd October 2020

OMUVUBUKA Edward Nsereko 19, omutuuze w’e Kabowa ali mu bulumi obutagambika oluvannyuma lw’okukubibwa abakuumaddembe ab’ekitongole kya LDU ne bamumenyaamenya amagulu n’okumukuba omutwe.

Edward Nsereko eyakubiddwa

Edward Nsereko eyakubiddwa





Alaajanidde ekitongole ky'amagye okumuyamba ku ba LDU abaamukuba nebamumenya amagulu bamuyambe bamujjajjanbe awone, asobole okuddamu okutambula okwekolera emirimu gye.

Asangiddwa mu kalwaliro ka St. Stephen Medical Center e Kabowa gy'ajjanjabirwa n'ategeeza nti yaakamala wiiki bbiri ng'akubiddwa wabula tannatereera, n'asaba abakulira eby'okwerinda mu ggwanga bamuyambe afune obwenkanya ku ba  LDU abaamukuba, bamujjanjabe awone.

Tasobola kuyimirira wadde okutambula, agamba nti yakubwa nnyo emiggo aba LDU emikono n'amagulu n'omubiri gwonna era buli wamu wamuluma, nga baamusanga ayoza mmotoka ze bakoleramu omulimu gw'okutunda enkoko.

Agamba baamukuba mu kiro kya 20/09/20, ssaawa nga mukaaga ez'ekiro, baamusanga ayoza  mmotoka ne bamukwata, ne batandika okumubuuza Kabaya gy'ali kyokka nga tamumanyi.

Baamutwala e Nalukolongo okumpi n'ekizimbe kya Makanga ne bamukubva batuuni omubiri gwonna, wabula omu ku ba LDU alina gwe yali ayogera naye ku ssimu era olwagivaako n'ajja n'agamba banne nti bamuleke kuba ssi yeye naye ne bongera bwongezi kumukuba n'azirika era yagenda okudda engulu ng'ali mu ddwaaliro.

Baamumenya okugulu, emikono gyonna baagikuba , agamba ekifuba kimuluma nnyo wamu n'omutwe kuba gwazimba.

Asaba abakulira ebitongole by'okwerinda mu ggwanga naddala abatwala ekya LDU,  bamuyambe afune obwenkanya bamujjanjabe awone kuba kati n'eddwaaliro limubanja ssente nnyingi z'atalina.

Dr. Stephene Mugula,  nnanyindi ddwaaliro lya St. Stephens Medical Center ajjanjaba Nsereko agamba;

Omuvubuka ono baamundeetera ku makya ga 21/09/20, waaliwo owa bodaboda eyamulaba ng'agudde ku kkubo ng'amumanyi n'amuleeta eno gye yali akolera ne bamundeetera.

Yali tategeera biri ku nsi, ng'alina ebiwundu eby'amaanyi bibiri ku kugulu nga yenna azimbye emikono, amagulu, omutwe n'empale twasala nsale okugiggyamu ng'azimbye nnyo.

Yali akubiddwa nnyo emiggo ng'omutwe gwonna guzimbye, ng'ennyama yeeyawudde ku magumba naddala ey'amagulu, baamukuba nnyo ku bibegabega, baamukuba ennyama ne bagisensebula ne yeeyawula ku magumba.

Naatandika okumukolako n'adda engulu, wabula ng'obwongo bukyankalanyemu nga by'ayogera tebikwatagana. Wadde embeera ekyuse okuva ku eyo weyajjira, naye akyetaaga obujjanjabi obw'amaanyi ate talina ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'olulyo Olulangira bafulu...

EKIWANDIIKO KU MBEERA YA KABAKA OKUVA MU BOOLULYO OLULANGIRA

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...