TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga lwaki aba NUP basudde Kasibante ne Ssempala

Ensonga lwaki aba NUP basudde Kasibante ne Ssempala

Added 4th October 2020

ALLAN Ssewannyana bamuwadde kkaadi ya NUP wabula ate babaka banne babiri: Moses Kasibante ne Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene ne babasuula.

Moses Kasibante NUP gwe yasudde

Moses Kasibante NUP gwe yasudde
Ssewannyana yayise ku bantu babiri be yabadde avuganya ennyo nabo okuli Musiri Bwogi ne Farouk Ntege muganda wa Seya nga bonna babadde baagala kkaadi ya NUP ku kifo kya Makindye West.

Wabula Kasibante baamusudde ne bawa sipiika wa KCCA Abubaker Kawalya ku kya Lubaga North ne Ssempala ne bamusuula ne bawa David Sserukenya mu Makindye Ssaabagabo.

Mu Kawempe South, munnamawulire Bashir Kazibwe Mbaziira naye baamuwadde kkaadi ya NUP n'amegga Dr. Roy Ssembogga eyaliko omukulembeze w'abayizi e Makerere.

Kyazuuliddwa nga Kazibwe asinga Ssembogga okubeera omuganzi mu bantu. Ensonga yeemu gye beesigamyeko okuwa Mohammed Ssegirinnya kkaadi ne basuula Sulaiman Kidandala eyasooka okulabika nga y'alina emikisa emingi amangu ddala nga Latif Ssebaggala abadde akiikirira ekitundu ekyo avudde mu lwokaano.

Kigambibwa nti ttiimu zonna ezaasindikiddwa mu kitundu zaakomezzaawo lipoota ezikwatagana nga ziraga nti Ssegirinya y'asinga okuba n'emikisa emingi egiwangula.

Ku Kasibante kigambibwa nti ekyasinze okumukosa kwe kuba nga yajja luvannyuma nga Kawalya yeenyweza dda mu NUP era ng'awagira nnyo enteekateeka z'ekibiina nti era yakubisa n'ebipande bya Bobi Wine n'abitimba mu Kampala wonna ku ssente ze. Mu kitundu nti nayo obuwagizi Kawalya yabadde abulina.

Ebifo bIno ebitaano byasoose okubeerako enkalu ez'amaanyi era olukiiko olukulembera NUP olwa National Unity Platform Executive Board ne luwalirizibwa okuddamu okusunsula abaagala kkaadi z'ekibiina ku bifo ebyo.

Kigozi Ssempala naye yasuuliddwa NUP

Abubaker Kawalya (Lubaga North), Mohammad Ssegiriinya (Kawempe North), ne Kazibwe Bashir Mbaziira (Kawempe South) basoose kulaba bubonero obulaga nti basoolobye ku be bavuganya nabo, wabula ate oluvannyuma baabazzizza mu kusunsula okupya ku Lwokuna wabula ku Lwokutaano baalangiriddwa wamu ne Ssewanyana.

Mu kusooka abakulembera NUP baali basuubizza okulangirira be bawadde kkaadi mu ssaawa 48 wabula essaawa zaayingidde mu 60 nga tebannasalawo. Akakiiko akapya ke baataddewo akakulirwa looya w'omu Kampala Geoffrey Turyamusiima nako kaabadde kasabye essaawa endala 48 okutegeka ebivudde mu kusunsula kwako.

Abamu baabadde tebasunsuddwa era ku makya g'Olwokutaano, Bwogi yakedde ku kitebe kya NUP e Kamwokya mu Kampala okusisinkana akakiiko. Yabadde mu lwokaano n'omubaka Allan Ssewanyana kyokka oluvannyuma baawadde Ssewannyana.

Ssewanyana ne Kasibante baabadde bakibateekako nti okugenda mu NUP baamala kulaba nga Dr. Kizza Besigye alaze nti tagenda kwesimbawo ku Bwapulezidenti ne balyoka bagenda e Kamwokya okuganyulwa mu ttutumu lya Bobi Wine era kino kigambibwa nti kye kyalemesa Ssewanyana okulangirirwa omulundi ogwasooka wabula n'akiyitako kubanga be yabadde avuganya baatunuuliddwa ng'abasinga nnyo mu bumanyirivu ate bwe kyatuuse ku Kawalya ne bakiraba nti atuuse kubanga mu kiseera kino ye Sipiika wa KCCA.

Ng'oggyeeko eky'okubeera Sipiika wa KCCA, Kawalya era yakyusa bakansala ba FDC bataano n'abatwala mu NUP ekyayongedde okumuwa enkizo ate nga ne mu by'ensimbi ezimusobozesa okutambuza obulungi kampeyini ze yapimiddwa ng'asooloobye ku Kasibante.

Wadde embiranye yasoose kubeera ku bifo mukaaga ebya Kampala ne Wakiso wabula waliwo ate n'ebifo ebirala okuli n'eky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Masaka biriko okusika omuguwa ogw'amaanyi kyabadde kivuganyizibwako Harriet Nakiyemba Ssebuwuufu mukazi wa John Mary Ssebuwuufu ng'avuganya ne Joan Namutaawe omusuubuzi mu Masaka kyokka nga yasazeewo okuyingira ebyobufuzi.

Oluvannyuma baalangiridde Muky. Ssebuufu kubanga nga beesigama ku bumanyirivu bw'alina mu byobufuzi. Mu 2011, Muky. Ssebuufu yavuganya ku Bwameeya bwa Nakawa era Nsubuga Balimwezo yamuwangulira watono.

Waasoose kubeerawo enteesegenya ez'amaanyi mu kibiina kya National Unity Platform (NUP) ku bantu abaabadde basibaganye ku bifo mu Kampala okukakasa nti batuuka ku nzikkiriziganya balekewo omu naye enteeseganya ezo zaagudde butaka nga ku baagala ekifo tekuli mwetegefu kulekera munne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...