
Ssebaggala ne Ssegirinnya abaleppuka
MOHAMMED Ssegirinya eyaweereddwa kkaadi ya NUP okuvuganya ku ky'omubaka wa Kawempe North ayogedde ebikankana ku mubaka w'ekitundu ekyo, Latif Ssebaggala eyalangiridde nga bw'agenda okukomawo avuganye ku kifo kye kimu ate nga yali yalangirira nga bw'akivuddeko.
Ssegirinya eyakazibwako "Ddoboozi ly'e Kyebando" yeewuunyizza Ssebaggala okukyukakyuka buli kiseera n'agamba nti kye bagenda okuddako okuwulira ng'asaba bwakkansala.
Latif Ssebaggala yasooka kulangirira mwaka guwedde nti ayagala kya Loodi Meeya, oluvannyuma n'akivaako n'agamba nti addayo okwesimbawo mu Kawempe North, wabula ate n'alangirira nga bw'asazeewo yeesimbe ku kya Loodi Meeya era n'asaba ne kkaadi ya NUP.

Kyokka olwagimuwa ate n'alangirira nti asazeewo obuteesimbawo ku kya Loodi Meeya era nti atunuulidde kya mubaka wa Palamenti ya East Afrika, wabula ebyo byonna yabikyusizza mu kuziika mukulu we, Nasser Ntege Sebaggala (Seya) ku Ssande n'alangirira nga bw'akyusizza addeyo yeesimbewo mu Kawempe North.
"Oyo muntu ki akyuka ng'obudde! Yasooka kwesimbawo ku mubaka wa Kawempe North bwe yatya ng'alaba nnina amaanyi mangi n'agenda ku kya Loodi Meeya wa Kampala; bwe yakitya n'adda ku ky'omubaka wa palamenti y'amawanga g'obuvanjuba bwa Afrika, ekya Loodi Meeya n'akisuulawo ate kati nti addayo ku kya Kawempe North.
Nze ne sikuba oyo atagalira mu kkubo ly'ebyobufuzi!" Ssegirinya bwe yaweze. Wabula Latif Sebaggala yagambye nti ekyamuleetedde okuddamu okwesimbawo ku ky'omubaka w'e Kawempe kwe kukizuula nti aba National Unity Platform, gwe baawadde kkaadi ya Kawempe North, yabadde munafu okumukkiriza okudda mu kifo ye (Latif) mw'abadde aweerereza obulungi.