TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Galabuzi atabaganyizza aba NRM abaawangulwa mu Busiro North

Galabuzi atabaganyizza aba NRM abaawangulwa mu Busiro North

Added 7th October 2020

Bonna abaawangulwa mu Busiro North konsituwensi Galabuzi b'akulira, yabatuuzizza ne bakkiriza okuvaamu okuggyako Polof. Gilbert Bukenya ataabaddewo.

Minisita Galabuzi ng'atabaganya abaawanguddwa. Kuliko Ronnie Nsubuga Mubiru (owookubiri ku ddyo), Afani Matovu ne Allan Muyinda (addiridde minisita ku kkono). Bano bakkirizza okuwagira  bannaabwe abaabawangudde.

Minisita Galabuzi ng'atabaganya abaawanguddwa. Kuliko Ronnie Nsubuga Mubiru (owookubiri ku ddyo), Afani Matovu ne Allan Muyinda (addiridde minisita ku kkono). Bano bakkirizza okuwagira bannaabwe abaabawangudde.

Minisita w'eggwanga atwala akanyigo k'e Luweero, Denis Ssozi Galabuzi atabaganyizza abakulembeze ba NRM abaagudde mu kusunsulwa kw'ekibiina gye buvuddeko ne bannaabwe abaabawangula ne bakkiriziganya okukolera awamu olw'obulungi bw'ekibiina.

Galabuzi yayise abakulembeze okuva mu Kakiri, Namayumba ne Masuliita Town Council n'abasisinkana ewuwe e Masuliita,  kyokka gwe yawangula, Polof. Gilbert Bukenya teyabaddewo wabula abamu ku bawagizi be baabaddewo ne bawera nti bo eby'okusika omuguwa baabivuddeko bagenda kuwagira buli eyakutte kaadi y'ekibiina kya NRM.

Minisita Galabuzi ng'atabaganya abaawanguddwa. Kuliko Ronnie Nsubuga Mubiru (owookubiri ku ddyo] Afani Matovu ne Allan Muyinda (addiridde minisita ku kkono). Bano bakkirizza okuwagira bannaabwe abaabawangudde.

Abamu ku baatabaganye kuliko abaawangulwa okuli; Allan Muyinda eyabadde avuganya ku bwassentebe bwa mmeeya bwa Namayumba , Afani Matovu yawanguddwa ku bwa mmeeya bwa Kakiri T/C , Ronnie Nsubuga Mubiru yawanguddwa e Masuliita T/C ne bakkansala ab'enjawulo mu Wakiso. Bonna abaawangulwa mu Busiro North konsituwensi Galabuzi b'akulira, yabatuuzizza ne bakkiriza okuvaamu okuggyako Polof. Gilbert Bukenya ataabaddewo. Galabuzi yagambye nti kino akikoze ku lwa kibiina kubanga ssentebe waabwe pulezidenti Museveni ky'ayagala.

Wabula ssentebe wa NRM atwala eggombolola y'e Masuulita yasoomoozezza minisita Galabuzi nti abakulembeze b'ekibiina kyaabwe waggulu baasalawo ki ku mmemba w'ekibiina awanguddwa ate n'asalawo okukijeemera avuganye ku bwannamunigina.  Galabuzi yamuzzeemu nti tebaagala kulaba muntu wa NRM yawanguddwa ng'avuganya ku bwannamunigina ng'abamu bwe baagala okukola era bagenda kubalwanyisa babalemese.  Yategeezezza nti abakyalemedde mu kalulu ng'ate baawangulwa bagenda kubakolerera babasuule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...