
Basalirwa (wakati) ng'ayogera
Bya Edith S. Namayanja
Bannakibiina kya Justice Forum (JEEMA) bakakasizza nga bwe batagenda kusimbawo muntu mu kibiina okuvuganya ku bwapulezidenti era nga baakubeera emabega w'omubaka Robert Kyagulalanyi owa NUP.
Asuman Basalirwa pulezidenti w'ekibiina kino, bino yabyogedde bwe baabadde bayisa ebiteeso ebyateeseddwaako akakiiko akafuzi ak'oku ntikko, omuli okwongezaayo okukyusa obukulembeze obuliko mu bbanga eritasukka myaka ebiri n'ekitundu olw'embeera ya Corona obutabaganya kulondera mu bitundu byabwe. Baabadde ku Tal Cottages e Kabuusu mu Lubaga.

Basalirwa yagambye nti eky'okubeera emabega wa Kyagulalanyi tekitegeeza nti abalina bendera y'ekibiina kyabwe tebajja kuvuganya mu bifo okuli aba NUP wabula kino bakikoze ku kifo kya pulezidenti kyokka.
Ono era akalaatidde bannakibiina okwewala okuyuugayuuga mu bibiina bwe baba baagala obuwanguzi nti JEEMA terina batitiizi era abaagala okuzunga mu bibiina tebageza okujja mu kibiina kyabwe.
Munnawulire Sarah Tushabe Mubiru era munnakibiina kino nga yeesimbyewo ku bwa Woman councillor LC3 Busega Parish wano we yasinzidde n'asaba abantu okumuwa obwesige abeeko by'atuusa mu kitundu naddala ku bucaafu obuli mu kitundu kw'oasa n'okusakira abavubuka beekolemu emirimu egy'emikono.