TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Makanika bamukutte ku by'okutunda mmotoka ze baamuwa okuddaabiriza

Makanika bamukutte ku by'okutunda mmotoka ze baamuwa okuddaabiriza

Added 9th October 2020

Makara yagambye nti Nsubuga amaze emyaka ebiri ng'amukanikira mmotoka ze nga yazimuwa mu 2019 okuziddaabiriza ebyuma ebyali bifudde wabula okuva olwo Nsubuga abadde muzibu okulaba nga buli lw'amukubira essimu amulimbalimba nga bwali ewala

Miriam Atoo akulira bambega ku poliisiy'oku Kaleerwe ng'akutte Nsubuga.  Mu katono ye Arthur Makara amulumiriza okumuwa mmotoka ze okuzikanika.

Miriam Atoo akulira bambega ku poliisiy'oku Kaleerwe ng'akutte Nsubuga. Mu katono ye Arthur Makara amulumiriza okumuwa mmotoka ze okuzikanika.

MAKANIKA gwe baakwasa mmotoka ssatu okuziddaabiriza yeefuulidde  nnyini zo n'azitunda,  poliisi emukutte n'ayogera be yaziguza  mu Ndeeba.
Jimmy Nsubuga 39, makanika w'emmotoka mu galagi emu e Nalukolongo ng'asula  Kisigula mu minisipaali y'e Makindye, Arthur Makara omukozi mu minisitule ya Science and Technology  yamulumirizza  okutunda mmotoka ze ssatu ze yamuwa okuddaabiriza  okuli  UAH 417J Toyota Carib, UAV 980K Isuzu Elf ne UAM 761M.

Makara yagambye nti Nsubuga amaze emyaka ebiri  ng'amukanikira mmotoka ze nga yazimuwa mu 2019 okuziddaabiriza  ebyuma ebyali bifudde  wabula okuva olwo Nsubuga abadde muzibu okulaba  nga buli lw'amukubira essimu amulimbalimba nga bwali ewala nti bw'anaakomawo ajja kumukubira essimu amuwe mmotoka ze.

Miriam Atoo akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe ng'akutte Nsubuga. Mu katono ye Arthur Makara amulumiriza okutunda mmotoka ze yamuwa okuddaabiriza.

Yagasseeko nti okukitegeera nti mmotoka ze zaatundibwa yamaze kusanga Toyota Carib e Wandegeya ng'eyagibaddemu yamutegeezezza  nga  Nsubuga bwe yagimuguza ku bukadde busatu.

Makara yagguddewo omusango ku poliisi y'oku Kaleerwe ku  Fayiro  nnamba SD REF:29/15/09/2020.
Abaserikale abaakulembeddwamu Miriam Atoo akulira  bambega baatandise omuyiggo ne bakwata Nsubuga eyabakakasizza nti  mmotoka baazimuwa kuzikanika n'atundako bbiri ng'emu Daihatsu Ferios 98  abadde tannagitunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...