
Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.
Entabwe eva ku mubaka Nambooze okwogera ebigambo ekkanisa by'erumiriza nti bya kalebule ate nga birengezza omulabirizi James William Ssebaggala ne pulojekiti z'obulabirizi okuli amasomero.
Nambooze ng'ayogera eri abamu ku beesimbyewo ku kkaadi ya NUP ku woofiisi z'ekibiina e Mukono gye buvuddeko yalaga ng'omulabirizi Ssebaggala bwe yeekobaana ne meeya w'ekibuga Mukono ne baggala essomero lya Bishop Central ne balekawo erya Bishop West mu ngeri gy'agamba nti yalimu amawunjukira.

Omubaka agattako nti bano tebaakoma okwo ate n'ensimbi ezisasula abasomesa oluvannyuma lw'okujja essomero lya Bishop West mu gavumenti ekkanisa n'ery'eddiza ne lifuuka lya bwannanyini nti kati bazikwatira kabbo mu kkanisa ng'agamba nti essaawa yonna lyakuggalawo ng'ensimbi eziriddukanya zibuze olwo ettaka balyegabanye mbu kuba baatandika dda n'okulitemamu ppoloti.
Mu lukiiko lw'amawulire obulabirizi bwe lwatuuzizza ku Lwomukaaga ku woofiisi z'obulabiriz nga lwakulembeddwa omuwandiisi w'obulabirizi, Rev. Canon John Ssebudde ne lwetabamu munnamateeka w'obulabirizi, Ronald Musoke ssaako ow'amawulire w'obulabiriz Derrick Kaddu, bano baalaze obutali bumativu olw'omubaka Nambooze okugufuula omugano bulijjo okulengezzanga omulabirizi mu ngeri ez'enjawulo.

Ssebudde yalaze okunyolwa olw'okulaba ng'omubaka Nambooze atuuka ku ssa ery'obutawa mulabirizi kitiibwa n'okumujolonga mu ngeri eyenkanidde awo.
Ono yakulembeddemu ab'amawulire n'abalambuza amasomero gano okuli erya Bishop East ne Bishop West agaasigalawo n'alaga engeri gye basobodde okugakuuma nga gali ku mutindo ngha kati gayisiza n'abaana mu ddaala erisooka ekyali kitakyaliwo.

Ye Provost wa Lutikko ya Firipo ne Ndereya Rev. Canon Enos Kagodo Kitto yasabye omubaka Nambooze okulaga abantu by'akoze okusinga ate okudda ku kkanisa n'omulabirizi ayogere kalebule n'okutyoboola ekikola obubi ennyo.
Munnamateeka w'obulabirizi, Musoke yategeezezza nti wadde nga baabadde balabye nga tekyetaagisa kudda mu mubaka Nambooze olw'ebyo bye yayogedde wabula bwe byatandise okusasaanyizibwa ku mikutu gy'amawulire egy'enjawulo ne bibaako be byakoze obubi olwo kwe kusalawo bamwanukule.

Musoke yagambye nti ssinga teyeekomeko n'agenda mu maaso n'ebigambo bye bimu, olwo baakulowooza ku ky'okukumuba mu mbuga z'amateeka olwo gasobole okubamutasaako.