TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ameefuga g'emyaka 58: Tuddemu okuzimba ebyenfuna

Ameefuga g'emyaka 58: Tuddemu okuzimba ebyenfuna

Added 11th October 2020

Rhodha Kalema, yaliko amyuka minisita w'ebyobuwangwa mu gavumenti ya Binaisa, yaliko amyuka minisita w'abakozi ba gavumenti n'ensonga za kabineeti 1989-1991, yaliko omukiise wa Kiboga County 1989-1996, yali mmemba wa CA, omu ku baakola Ssemateeka wa 1995 gwe tutambulirako;

Rhoda Kalema

Rhoda Kalema

TUDDEMU OKUZIMBA EBYENFUNA

Rhodha Kalema, yaliko amyuka minisita w'ebyobuwangwa mu gavumenti ya Binaisa, yaliko amyuka minisita w'abakozi ba gavumenti n'ensonga za kabineeti  1989-1991, yaliko omukiise wa Kiboga County 1989-1996, yali mmemba wa CA, omu ku baakola Ssemateeka wa 1995 gwe tutambulirako;

Okufuna obwetwaze bw'ebyenfuna wano mu Uganda kitegeeza kuddamu kubizimba, abafuzi b'amatwale baaleka bazimbye ebyenfuna, we baatuweera obuyinza ng'ekitundu ekisinga obunene kizimbiddwa.

Okutumbula ebyenfuna kulina kutambulira wamu n'obulamu obulungi n'obuyigirize,  ng'omusingi guli ku  buyigirize bwa buli kintu kyonna n'okubeera ng'abantu balamu. tulaba abaminsani baazimba nnyo amasomero n'amalwaliro era ebyenfuna byatereera.

 Abantu basobola kukola nga balamu ate nga babangufu, nga bamanyi eky'okukola, nga balina amagezi n'obukugu ku kye bakola.

Abafuzi b'amatwale baatuyigiriza okulima okuganyula,   baanyweza n'okutumbula ebirime eby'ettunzi omuli;  ppamba, emmwaanyi, Cocoa ebyayamba okutumbula ebyenfuna by'abantu.

Gavumenti eyasooka nga twakafuna obwetwaze yalimu ababaka ba paalamenti 90 nga kuliko baminisita 17 n'ababeezi ba baminisita 11, bano be beeguliranga emmotoka mwe baatambuliranga, ne batandika okwongereza ku Bazungu bye baaleka, okuzimba amalwaliro n'amasomero.

Ettendekero lya Makerere  yunivasite eryayitibwanga College lyatandikibwawo mu 1922, ng'okuyigirizibwa kwonna kuteekebwamu amasomo g'okugezesa okusobola okukozesa emikono(vocational studies), yalina  amasomo 4 okwali; Ebyobulimi, ebyobulunzi obusomesa n'obusawo.

Amasomero  agaatandika edda nga gayigiriza emirimu gy'omutwe omwali; okulima, okufumba okubajja, okutunga okubumba n'ebirala,  nga buli muntu asomyeko  asobola okubaako ky'akola ekimuwa ssente, nzijukira nafunako ekirabo ky'omutunzi eyasinga banne mu P6.

Amasomero gonna okuva ku mutendera ogwa wansi gaalingamu amasomo g'emirimu gy'omutwe, nga buli muyizi ku buli mutendera kw'aba akomye aba alina eky'omu mutwe ky'asobola okukola n'afunamu ssente.

Gavumenti  ezzeewo enkola eno , amasomo gano agayigiriza abaana okukozesa emikono gyabwe okubaako bye bakola okufunamu ssente gaddewo okuviira ddala wansi, abayizi bagende okuva ku masomero nga baasobola okubaako bye bakola okufunamu ssente si kunoonya mirimu, ebyenjigiriza babyongeremu amasomo.

Amatendekero g'ebyemikono gaddewo, buli disitulikiti ebeeremu ettendekero lino bye bimu ku binaayongera okukuza ebyenfuna, abasomesa basasulwe bulungi basobole okusomesa obulungi.

Amalwaliro nago gatumbulwe gatuuke ku mutindo ogusaanira n'abasawo basasulwe bulungi baasobole okujjanjaba obulungi, abantu babeere balamu bakole emirimu egikola ssente.

Entambula esaana eyongere okulongoosebwa, bodaboda zikendeere abavubuka abazirimu batwalibwe mu matendekero g'ebyemikono babeeko ebintu bye bafulumya ebireeta ssente kuba balina amagezi mangi naye bagatadde mu bodaboda.

  Wazimbwewo amaterekero g'ebirime, we bikuumirwa we biva okutwalibwa ebweru w'eggwanga okutundibwa.

Gavumenti ekole ku nsonga y'ettaka, abantu baleme kugobwa ku ttaka, tetusobola kukula mu byanfuna ng'abantu bali mu ddukadduka ku ttaka lyabwe.

Ebyobulimi byetaaga okukuzibwa abantu bakozese ennima ey'omulembe, baalime ebirime mu bungi nga bafunako ebyokulya ate ne bafissa eby'okutunda okufunamu ssente. Nzijukira edda twasoma batugamba  nti eggwanga litambulira ku C nnya; Cotton, Coffee, cocoa ne Copper  nti ze zirabirira eggwanga. Tuddemu tutumbule ebirime ebyo kuba bikyalina ettunzi

 Amasannyalaze kikulu, ebitundu  byaffe eby'eggwanga byetaaga nga wonna waliwo amasannyalaze nakyo kikulu mu kutumbula eby'obusuubuzi.

Abavubuka babangulwe mu bukodyo bw'okutondawo emirimu, kyennyamiza mu kiseera ky'omuggalo abawala bayitirivu bafunye embuto olw'obutaba na byakukola,  ssinga baali bayigiriziddwa emirimu gy'emikono mu masomero ssinga kati balina bye bakoze ebivaamu ssente,

Gavumenti ekomye omuze gw'okugabira abantu ssente ,  ebawe bukugu bukola mirimu,  bo beekolere ssente baleme kusabiriza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...