TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ameefuga g'emyaka 58: Ebyenfuna tubiggye mu mikono gy'abagwira

Ameefuga g'emyaka 58: Ebyenfuna tubiggye mu mikono gy'abagwira

Added 11th October 2020

Israel Mayengo, yaliko omubaka wa palamenti ow'e Ssese ku gavumenti ya Lule, Muwanga ne ku eno eya Pulezidenti Museveni;

Israel Mayengo

Israel Mayengo

EBYENFUNA TUBIGGYE MU MIKONO GY'ABAGWIRA

Israel Mayengo, yaliko omubaka wa palamenti ow'e Ssese ku gavumenti ya   Lule, Muwanga ne ku eno eya Pulezidenti Museveni;

Uganda bwe yali enoonya okwefuga, twatunuulira ebintu ebikulu bisatu omwali; okulwanyisa obwavu,obutamanya n'endwadde.

Ebiseera ebyo omulabe asinga, ayitibwa "Enguzi " yali tannajja, ate ng'ono y'asinga obubi mu byenfuna by'eggwanga, abiremesezza  okukula.

Ebyenfuna kye kimu ku byali ebigendererwa by'okufuna obwetwaze, naye bw'otunuulira kati, obwavu bukyali bungi, eriyo n'abantu abakyasula mu nnyumba z'essubi oluvanyuma lw'emyaka 58 nga twefuga!

 Gavumenti erina amabanja mangi, ssente ezikola emirimu twewola nneewole ekiraga nti ebyenfuna bibi. Mpulira nti gyebuvuddeko omukulembeze w'eggwanga lyaffe yaasaba ensi ezitubanja zituyambe zitusonyiwe  amabanja, ekyo kyokka kitegeeza nti embeera gye tulimu mu byenfuna mbi yeetaaga kusabirwa.

Nga tetunnafuna bwetwaze, abaaliwo baalwanirira ebyenfuna era waaliwo  akeediimo mu myaka gya 1940 ne 1950  ke baayita nnamba 8 ne nnamba 9, nga bannansi baagala  bennyini beetundire ebyamaguzi byabwe mu mawanga g'ebweru.

Waaliwo ne ssente ezaavanga mu ppamba, emmwaanyi, Cocoa nga waaliwo omutemwa oguterekebwa ebweru w'eggwanga mu ggwanga lya Australia, zaayitibwanga "Stabilisation fund", zino zaayambanga mu mbeera  ebbeeyi y'emmwaanyi oba ppamba ng'esse,   nga zireetebwa okuyambako abalimi n'abasuubuzi okuvvuunuka embeera eyo enzibu. Ssente zino Kironde ze yakozesaako okuzimba eddwaaliro lya Mulago omupya.

 

Pulezidenti Idi Amin yalwanirira  obwetwaze bw'ebyenfuna by'eggwanga lyaffe,  yalina omwoyo ogukulembeza Uganda,  yasanga Abayindi bawambye eggwanga lyaffe mu byobusuubuzi, ng'amaduuka okuva e Nakawa okutuuka e Wandegeya nga gonna ga Bayindi.

Okumanya Uganda tulirwawo okutuuka gye tulaga, omusajja eyalwanirira obwetwaze bw'ebyenfuna bwatyo, n'akomyawo ebyaffe okuva mu mikono gy'Abayindi,  ate kati twabizzaayo ne tubiddiza Abayindi ate nga bangi Amin yali  abasasudde ssente mu bintu byabwe bisobole okuddira bannansi okusitula ebyenfuna.

Ffe fenyini tukotoggera ebyenfuna byaffe, emirimu egy'enkizo mu ggwanga giweebwa bagwira, ate bwe wabaawo munnansi gwe bawa bamujerega n'okusasula balwawo.

Enguzi efuukidde ebyenfuna byaffe ekyambika,  eyonoonye buli kimu, okufuna kontulakiti okukola ekintu weesanga nga ssente ezisinga obungi ziggweera mu nguzi,  ekireetera abakola emirimu okukola egitasaanye kubanga ssente ezisinga obungi zaagenda ku nguzi okugulirira okufuna omulimu ogwo.

Gavumenti emirimu gyeyandiwadde abantu baayo ate egiwa bagwira, laba kkampuni ekola ssukaali eya Kinyara Sugar, gavumenti bwe yali egitunda yagiguza Bayindi mu kifo ky'okuyita Bannayuganda okugulamu emigabo ate nga kino kyandikoze ne ssente nnyingi okusinga Abayindi.

Ate ssente ezaava mu Kinyara Sugar, gavumenti  n'eziwola omukazi Omusomaali nti  agende mu  Acholi, Amuru alime ebikajjo ateekeyo n'ekyuma kya ssukaali,  kati ezo ssente ssinga yaziwa abantu mu Acholi  ne balima ebikajjo n'okuzimba ekyuma ekyo , bo ne baleeta buleesi  abagwira okubayambako ku mirimu nga  bwe bayiga!

Okusitula ebyenfuna byaffe  kyetaagisa okweyambayamaba ffekka , tweyagalize, ebyenfuna byaffe tubiggye mu mikono gy'abagwira tubiteeke mu mikono gyaffe,  nga ffe twekolera emirmmu, we kyetaagisizza omugwira nga tumuleeta kutuyambako , si  bo okubaleeta okukola, tuve mu mabanja, gatufudde abaddu b'abagwira ne batutambuliza ku ntoli zaabwe. Embalirira yaffe tugiteeke ku byobulimi tubisitule.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...