TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezinze entujjo y'abaseegu e Kireka: Ekutte 21 ababadde bazina nga bali bukunya

Poliisi ezinze entujjo y'abaseegu e Kireka: Ekutte 21 ababadde bazina nga bali bukunya

Added 12th October 2020

Entujjo eno eya “Sex Party” yabadde ku Tower Guest House e Kireka ku luguudo lw’e Kasokoso ku Lwomukaaga ekiro. Ekifo kyajjudde ne kibooga.

Abamu ku bawala abaabadde mu kimansulo e Kireka.

Abamu ku bawala abaabadde mu kimansulo e Kireka.

ABAATEGESE entujjo y'abaseegu e Kireka baasoose kuyisa birango nga bayita abaagala okwesanyusa mu mukwano. Okuyingira ng'osasula 50,000/- ezikutwala mu kifo ky'abakungu (VIP) ate abalala 30,000/-.

Entujjo eno eya "Sex Party" yabadde ku Tower Guest House e Kireka ku luguudo lw'e Kasokoso ku Lwomukaaga ekiro. Ekifo kyajjudde ne kibooga.

Mwabaddemu abawala abazina ekimansulo, abazze okulaba n'abaagenze okwesanyusa nga basasula abawala okwegatta nabo. Kyokka poliisi yabazinze mu ttumbi n'ekwata abawala 21 n'abasajja mwenda abagambibwa nti baasangiddwa mu kikolwa.

Abalala badduse. Ekifo kino kirudde nga kikolerwamu emyoleso gy'obuseegu. Kigambibwa nti ne mu kalantiini ya corona kyasigala kikola.

ABAAKWATIDDWA BAGGALIDDWA KU POLIISI Y'E KIRA

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti abenzi bano baasoose kukuba kalango ne bakasaasaanya ku mikutu gya yintanenti nga bayita abantu abaabadde baagala okwetaba ku kabaga k'obuseegu kano okwewandiisa.

Abawala abaasoose okutuuka ku kifo akabaga we kaabadde, baakutte akatambi ke baaweerezza bakasitooma abeewandiisizza nga babuulira ebigenda okubeerayo ne babalaga ne ku bitundu by'emibiri gyabwe nga bagamba "mulabeeko ku bye tugenda okubagabula ku kabaga".

Onyango yagambye nti poliisi yasindise bambega ne beetaba ku ntuffo era baayambye okukolagana n'abaserikale abali mu yunifoomu okukwata abaseegu.

Entujjo z'abaseegu zaakyaka nnyo okutuusa abaddukanya ebifo omusanyukirwa lwe baaweebwa ebiragiro obutakkiriza kimansulo era amenya ebiragiro ng'ekifo kiggalwawo.

Ku ntujjo zino, abategesi bafuna abawala ne bazina ekimansulo. Abasajja abaagala okwegatta mu mukwano n'abawala abo babasasuza ssente ne beeroboza mu bawala be baagala okwesanyusaamu nabo.

ABAATEGESE entujjo
y'abaseegu e Kireka baasoose
kuyisa birango nga bayita abaagala
okwesanyusa mu mukwano.
Okuyingira ng'osasula
50,000/- ezikutwala mu kifo
ky'abakungu (VIP) ate abalala
30,000/-.
Entujjo eno eya "Sex Party"
yabadde ku Tower Guest House
e Kireka ku luguudo lw'e Kasokoso
ku Lwomukaaga ekiro.
Ekifo kyajjudde ne kibooga.
Mwabaddemu abawala abazina
ekimansulo, abazze okulaba
n'abaagenze okwesanyusa nga
basasula abawala okwegatta
nabo.
Kyokka poliisi yabazinze mu
ttumbi n'ekwata abawala 21
n'abasajja mwenda abagambibwa
nti baasangiddwa mu
kikolwa. Abalala badduse.
Ekifo kino kirudde nga
kikolerwamu emyoleso
gy'obuseegu. Kigambibwa nti
ne mu kalantiini ya corona kyasigala
kikola.
ABAAKWATIDDWA BAGGALIDDWA
KU POLIISI Y'E KIRA
Omwogezi wa poliisi mu
Kampala n'emiriraano, Patrick
Onyango yagambye nti abenzi
bano baasoose kukuba kalango
ne bakasaasaanya ku mikutu
gya yintanenti nga bayita abantu
abaabadde baagala okwetaba
ku kabaga k'obuseegu kano
okwewandiisa.
Abawala abaasoose okutuuka
ku kifo akabaga we kaabadde,
baakutte akatambi ke baaweerezza
bakasitooma abeewandiisizza
nga babuulira ebigenda
okubeerayo ne babalaga ne ku
bitundu by'emibiri gyabwe nga
bagamba "mulabeeko ku bye tugenda
okubagabula ku kabaga".
Onyango yagambye nti poliisi
yasindise bambega ne beetaba
ku ntuffo era baayambye okukolagana
n'abaserikale abali mu
yunifoomu okukwata abaseegu.
Entujjo z'abaseegu zaakyaka
nnyo okutuusa abaddukanya
ebifo omusanyukirwa lwe
baaweebwa ebiragiro obutakkiriza
kimansulo era amenya
ebiragiro ng'ekifo kiggalwawo.
Ku ntujjo zino, abategesi
bafuna abawala ne bazina ekimansulo.
Abasajja abaagala okwegatta
mu mukwano n'abawala abo
babasasuza ssente ne beeroboza
mu bawala be baagala okwesanyusaamu
nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.