TOP

Mutuwagire tubaleetere enkyukakyuka

Added 12th October 2020

ABAYIMBI ne bannakatemba basabye Bannayuganda okubawagira n’okubakkiririzaamu mu kaweefube gwe baliko okuleeta enkyukakyuka n’okubakulaakulanya mu bintu eby’enjawulo. Bannabitone bano okwabadde: Geoffrey Lutaaya, Mathias Walukagga, Dr. Hilderman, Patricko Mujuuka ne maneja wa Rema, Geoffrey Kayemba okwogera bino baabadde bagenda basisinkana abantu ku byalo eby’enjawulo e Bukomansimbi.

Lutaaya ng'ayogera eri abatuuze b'e Kikondere. Ku kkono ye Dr. Hilderman ate ku ddyo ye Godfrey Kayemba Ssolo.

Lutaaya ng'ayogera eri abatuuze b'e Kikondere. Ku kkono ye Dr. Hilderman ate ku ddyo ye Godfrey Kayemba Ssolo.

ABAYIMBI ne bannakatemba basabye Bannayuganda okubawagira n'okubakkiririzaamu mu kaweefube gwe baliko okuleeta enkyukakyuka n'okubakulaakulanya mu bintu eby'enjawulo.

Bannabitone bano okwabadde: Geoffrey Lutaaya, Mathias Walukagga, Dr. Hilderman, Patricko Mujuuka ne maneja wa Rema, Geoffrey Kayemba okwogera bino baabadde bagenda basisinkana abantu ku byalo eby'enjawulo okuli: Kiryamenvu, Kikondere, Batayunja, Buyoga, Kyabiri, Katanga mu Bukomansimbi South ku Lwokusatu.

Kayemba avuganya ku kifo ky'omubaka wa Bukomansimbi South yagambye nti nga maneja w'abayimbi ate kittunzi w'abasambi b'omupiira agenda kukolagana ne mikwano gye mu ggwanga n'ensi z'ebweru abasakire ssente wamu n'ebintu by'okwekulaakulanya wamu n'okukuza talanta z'abaana n'abavubuka naddala abayimbi, abasambi b'omupiira n'abawala abamanyi okubaka.

Yeeyambye n'okukozesa obukugu bw'alina okubasakira ssente mu Gavumenti eya wakkati okubakolera enguudo n'okutumbula ebyenjigiriza. Lutaaya yabasabye okukuuma emirembe n'obutakola ffujjo mu biseera by'okulonda wamu n'okwekuuma obulwadde bwa COVID 19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...