TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakedde okusuubula afiiridde mu kabenje e Kanyanya

Eyakedde okusuubula afiiridde mu kabenje e Kanyanya

Added 13th October 2020

Omu ku baabaddewo ng’akabenje kagwaawo, yategeezezza nti obuzibu bwavudde ku mugenzi kutuula kikazi ku ggaali n'alemwa okwenyweza olw’okwekanga era wakati mu kutagala kw’eggaali n’agwa wansi n’afiirawo.

Abantu nga beetegereza omukazi eyafudde.

Abantu nga beetegereza omukazi eyafudde.

Eyakedde okusuubula afiiridde mu kabenje

Bya Madinah Sebyala 

OMUKAZI eyakedde okusuubula teyasobodde kutuuka mu katale mmotoka bwe yamutomeredde ku kagaali kwe yabadde n'agwa ekigwo omutwe n'agukuba ku kolaasi n'afiirawo.

Emmotoka etaategeerekese yabatomeredde ku katale Zooni e Kanyanya mu Kawempe Divizoni  mita nga 10 ng'onootera okutuuka ku katale  k'oku Kaleerwe ku Ssande ku ssaawa  nga 1:30 ez'oku makya.

Abantu nga beetegereza omukazi eyafudde.

Eyabadde aweese omugenzi, Nelson Ejida eyasimattuse okufa yategeezezza kkansala Muhamed Ssegirinya ng'ono y'omu ku bavuganya ku bubaka bwa Palamenti mu Kawempe North, eyamututte mu ddwaaliro   okufuna obujjanjabi, nti omugenzi yamuggye ku siteegi ya Erisa e Kyebando ng'amutwala ku ku katale ka Kaleerwe kusuubula birime byabadde atundira ku mudaala.

Omu ku baabaddewo ng'akabenje kagwaawo, Innocenti Nzeeimaana yategeezezza nti obuzibu bwavudde ku mugenzi kutuula kikazi ku ggaali nga yalemereddwa okwenyweza  olw'okwekanga era wakati  mu kutagala kw'eggaali n'agwa wansi n'afiirawo.

Bukedde we yaviiridde mu kifo kino poliisi yabadde tennatuuka kuggyawo mulambo abantu kye baavumiridde.  Mmotoka eyakoze akabenje teyayimiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...