TOP

Abaaferebwa ettaka e Jinja Kalooli bakaaba

Added 13th October 2020

Abamu ku bano baali batandise n'okuzimba, Ali Kissekka nnannyini ttaka omutuufu we yabakakasiza nti baagula mpewo n'abalaga ebiwandiiko ebituufu kwe yagulira ng'ekisinga okubeewuunyisa baagenda okukizuula nga Poloti emu Ntale yagiguzanga abantu abasoba mu basatu ng'endagaano bazikolera ku LC.

Abamu ku baaferebwa.  Mu katono ye Kisekka, nnannyini ttaka omutuufu.

Abamu ku baaferebwa. Mu katono ye Kisekka, nnannyini ttaka omutuufu.

ABANTU abaaferebwa ettaka e Jinja Kalooli balumirizza ssentebe w'ekitundu okuba mu lukwe ne basaba poliisi akwatibwe asobole okubaliyirira kuba endagaano ze balina ye yazibaakolera.  LC egamba nti nayo omufere yagitomezza.

Ettaka lino eriwezaako  Fuuti 106 mu bugazi ate mu buwanvu 107 lisangibwa ku kyalo Jinja Kalooli mu muluka gw'e Wamala mu ggombolola y'e Nabweru  mu Disitulikiti y'e Wakiso ng'abantu 13 baaligula ku Steven Ntale ng'akolagana ne ssentebe w'ekitundu, Andrew Musisi Kasatiro eyabakolera endagaano.
Abaagula kuliko;  Catherine Namirembe ow'e Katooke yagula fuuti 20-40 ku 3,000,000/-, Shafik Kasekende w'e Nabweru yagula fuuti 25-30 ku 4,300,000/, Zaidi Kanyike ow'e Kazo Lugoba  yagula fuuti 20-40 ku 2,500,000/-, Ivan Sande yagula fuuti 35-20 ku 3,000,000/-, Veronica Naggujja ow'e Ndejje  yagula fuuti 20-40 ku 2,000,000/-, Rahuma Nantanda ow'e Kanyanya ng'abadde Oman gye yasinziira okuweereza ssente okumugulira poloti n'abalala.

Abamu ku bano baali batandise n'okuzimba, Ali Kissekka nnannyini ttaka omutuufu  we yabakakasiza nti baagula mpewo n'abalaga ebiwandiiko ebituufu kwe yagulira ng'ekisinga okubeewuunyisa baagenda okukizuula nga Poloti emu Ntale yagiguzanga abantu abasoba mu basatu ng'endagaano bazikolera ku LC.
Kisekka yakwatagana n'abaaferebwa ne baggulawo omusango ku poliisi  ne bakwata Ntale n'atwalibwa mu kkooti y'e Nabweru n'asindikibwa mu kkomera e Kitalya kyokka abaaferebwa si bamativu Kasatiro obutakwatibwa nga bagamba ye yakolanga endagaano ezitunda poloti emu emirundi egisoba mu esatu ng'era kirabika yali mu lukwe ne Ntale.

Abamu ku baaferebwa ettaka e Jinja Kalooli. Mu katono ye Kisekka nnannyini ttaka omutuufu.

NNANNYINI TTAKA OMUTUUFU AYOGEDDE
Ali Kisekka omusuubuzi w'ebyamasannyalaze mu Kiyembe, nnannyini ttaka omutuufu yategeezezza nti, omukyala gwe nagulako ettaka eryo fuuti 106 ku 107 mu 2013 yali omu ku baakakiiko ka LC yategeeza ssentebe nti atunze ekifo n'atandika okukirimirako wabula olw'ebisolo okulya ebirime byange nasalawo okwesonyiwa okulimirako naye ng'abantu abasinga baali bamanyi nti wange. Nakitegeera mu 2019 nti waliwo eyeefuula nnyiniryo.

Ssentebe Kasatiro yategeezezza nti, omukyala Lutwama bwe yali  atadde ettaka lye ku katale nti alitunda twakitegeerako nga LC kyokka bwe yali aliguza Ali Kisekka tetwamanya ers bwe yatuleetera endagaano ng'eraga nti Lutwama ye yamuguza tetwalinamu kutya kwonna.
 Ntale yatandika okusalamu poloti n'aziwa nnamba n'aleeta abaguzi nga LC ne tukola endagaano olw'okuba poloti nnamba twali tuzitegedde bwe yaleetanga omuguzi tekyatwetaagisanga kugenda ku poloti, nga tukola ndagaano eyo y'ensobi abaagula gye banvunaana nti kirabika nali mu lukwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyagulanyi ng’alaga Byabakama ebimu ku bifaananyi by’effujjo erizze limukolebwako abeebyokwerinda.

Omulamuzi Byabakama ayanuku...

OLUVANNYUMA lw'okusisinkana ttiimu ya NUP eyakulembeddwa Kyagulanyi, omulamuzi Simon Byabakama yannyonnyodde ku...

Kyagulanyi ng’alaga Byabakama ebimu ku bifaananyi by’effujjo erizze limukolebwako abeebyokwerinda.

Bobi atutte ensonga 7 mu ka...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awadde akakiiko k'ebyokulonda ensonga musanvu z'ayagala batereeze okusobola...

Gloria Nakiboneka eyafudde.

Enfa y'owa poliisi ekyatabu...

ENFA ya ofiisa wa poliisi abadde akulira ofiisi ekola ku nsonga z'amaka n'abaana e Kabalagala ekyatabudde baserikale...

Lukwago mu ddwaaliro e Nairobi.

Lwaki ab'e Nairobi batumizz...

OMUSAWO wa Erias Lukwago bamutumizza okugenda e Nairobi mu kiseera kino ‘omuloodi' gy'ajjanjabirwa. Dr. Hassan...

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...