
Abasajja nga batwala omugabo gwabwe ku pikipiki.
Bya JohnBosco Mulyowa
PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni akubye abalunzi b'omu disitulikiti y'e Rakai enkata. Abagabidde ebisolo okuli: ente n'embizzi babirunde basobole okwekulaakulanya n'okulwanyisa obwavu.
Museveni yatumye ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, Robert Benon Mugabi eyakwasizza abalunzi bano ebisolo byabwe era bonna baavuddewo nga bajaganya nga bagamba nti ke bafunye entandikwa, obwavu babusiibudde.
Omukolo gwabadde ku ssomero lya St.Pius Lwamaggwa. Wabula olutalo lwabadde ku ngeri abalunzi bano gye baatambuzzaamu ebisolo byabwe. Abamu baalabiddwaako nga basitudde obubizzi ng'abaana, abalala baazisibye ku bboodabbooda n'abalinamu ne bazitwalira mu mmotoka zaabwe.